15/7/2026
Ssentebe w’e kyalo Buwaate Winters Nkangi eyakazibwako erya Gavana w’e Buwaate asanyukidde etekateeka ya kakiiko k’e by’okulonda gyekayisizza enagobererwa okulonda aba LC.

Nkangi ategezezza nti ku mulundi guno tagenda kugira ku tikiti ya kibiina kyonna kubanga yagizuula nti ebibiina byawulayawula mu bantu y’ensonga lwaki asazeewo okujja nga talina kibiina,
Asiimye etekateeka ya kakiiko k’e gyekayisizza egenda okugobererwa okulonda obukiiko bwa LC eya wiiki emu mwebagenda okunoonyeza akalulu akagenda okugenda okubaawo nga 28 omwezi guno nti egenda ku basobozesa okunoonya akalulu akanabasobozesa okufuna ekisanja ekirala.
Nkangi agamba nti ennaku ezabawereddwa zigenda kubongerako okutuuka ku bantu abo ababadde batanategeera omugaso gw’okulonda obukiiko bwa LC,nabo okumanya nti kyamugaso okulonda obukiiko bwa LC.
Mu kisanja ekipya Nkangi ategezezza nti agenda kulwanilira bantu bakulembera sosi kwekussa yekka , nokwongera okukolera abantu ku kitundu nabo bongere okwekulanya.
Bya Musasi Waffe

