Ssabanyala omujja atuuziddwa nebabalabula kuntalo, abanyala bafudde essanyu. 

muguladan2024@gmail.com
4 Min Read

16/8/2026

 
KAYUNGA.
 
NNAMUNGI w’omuntu yekulumudde ne yeeyiwa ku kyalo Kyerima ekisangibwa mu gombolola ye Kitimbwa mu disitulikiti ye Kayunga ku mukolo gw’okujjukira n’okusabira Omwoyo gwa ssabanyala eyasooka omugenzi Nathan Mpagi eyafa nga 3/08/2008 wamu  n’okulaga abanyala omukulembeze wabwe omugya  Fred Sseruzzi Mpagi  eyalondebwa kubwa Ssabanyala.

Sseruzzi eyalondebwa kubwa ssabanyala awatali kuvuganyizibwa oluvanyuma lw’okunabira Cpt.Baker Kimeze Mpagi abadde Ssabanyala mu maaso, olw’ensonga ezenjawulo bbo ze bamulumiriza nti abadde avudde ku mulamwa gw’okukulembera obulungi abanyala n’okusanyaawo ebintu by’obunyala..

Rev.  John Karamire okuva ku kkanisa ya VCCA okuva e Gangu mu Kampala eyakulembedde okusaba,  yasabye abantu ba Katonda okweyisa obulungi nga bali kunsi ng’omugenzi Mpagi bwe yakola, olwo lwe bajja okujukirwa ate n’okusabira nga bavudde mubulamu. 
 
Yakutidde abantu bulijjo okwemaliza kukukola ebyo Katonda byayagala, olwo naye lwajja okukola kwebyo bye tumusaba. Ono era yasabye gavumenti okuteeka amangu amannya ga sabanyala mu Kitabo omuli abakulembeze benono ate n’okumuwa byonna ebyetagisa nga bwekola kubakulembeze abalala.

Ssabanyala omugya Fred Sseruzzi Mpagi yebazizza aba famile ye okumuwa omukisa ne bamulonda okukulembera abanyala era ne yebaza pulezidenti Museveni ne gavumenti ye okukirizza obukulembeze obw’ensikirano omuli n’obwa Kabaka bwa Buganda okuddawo ate n’okukiriza abanyala okwetongola. Yavumiridde abakulembeze naddala abali e Kayunga abakyakumidde ekitundu kyabwe mu ntalo okukikomya era n’asuubiza okukolerera enkulakukana za bantu bonna ate naddala ng’ayambibwako n’omukono gwa gavumenti.

Yasabye abanyala okwongera okwenyigira mu bintu ebikulakulanya Kayunga omuli okulima, nga bwe balinga okusooka. Yeyamye okulwanyisa ekibba ttaka ekiri mu Kayunga nga tagenda kuba ng’abop abakulembeze ate abenyigira mukubba ettaka ly’abantu lyebalina okubakuumira.

Sseruzzi mutabani wa Nathan Mpagi, era ye mukulu wa Baker Kimeze abadde ssabanyala okumala emyaaka 18. Omugenzi Mpagi yamulonda okubeera sentebe wa famile okutuusa lwe yalondeddwa.
Omukolo guno gwetabiddwako abagenyi abenjawulo okuli Minisita omubezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi, Brig General Cesar Musinguzi akulira okulwanisa obutujju mu UPDF , Patrick Nsanja omubaka wa Ntenjeru  South nabalala.

LWAKI ABA FAMILE BAGOBYE KIMEZE KUBWA SSABANYALA 
 
Okusinziira ku Henry Mpagi  Mukondo omu kubakulu ba Kimeze era eyebuzibwako kunsonga z’abanyala atutegezeza nti, okusinziira ku ssemateeka w’abanyala, omukulembeze ow’okuntikko Alina okukulembera emyaka kkumu (10) gyokka, kyokka ye Kimeze abadde amaze kubukulembeze buno emyaaka kkumu na munana (18), ekintu ekikontana ne ssemsteeka.

Ono era agamba nti mubukulembeze bwa Kimeze, alemereddwa okukuuma eby’obugagga by’obunyala omuli ettakka n’ebibira, era nga yaguza abalimi be bikajjo ekibira kye Kiwuula awamu n’ekibira kye Wamale kwosa ekibira kye Bajjo, ekintu, aba famile Kye bagamba nti kibaswazizza nnyo ate n’okuzza emabega ekitiibwa ky’obunyala.
 
Bano era bagamba nti mu 2013 pulezidenti Museveni bwe yali mu lumbe lwa taata wabwe era Ssabanyala eyasooka Nathan Mpagi, yabawa obukadde 50 mu SACCO yabwe okusobola okwekulakulanya, kyokka sente zonna n’azibalyako, era ng’abanyala  ne basigala nga bemulugunya. 

Livingstone Bigumirwa eyali minista w’ebyobulimi mu bukukembeze bwa Kimeze ategezezza nti  pulezidenti Museveni yabwa tulakita bbiri okusobola okubayamba okwekulakulanya mu by’obulimi, kyokka Kimeze tulakita emu n’agitonera mukazi we Ali e Masaka endala emukolera sente mu byaalo bye Bugerere.
 
Aba famile bano  balumiriza Kimeze okutunda ettaka lyabwe erisussa yiika 572 eritudde ku byaalo omuli Munkuutu, Nabityanka, Ssokoso ne Gweero, era nga bino yabikola ayambibwako abakulembeze abamu abaamanyi mu Kayunga.
 
 
Ensonga ezo zaviirako aba famile okuddukira  mu kkooti e Mukono, era kkooti n’emugoba  kubuvunanyizibwa bwa famile n’obwa ssabanyala, olwo abafamire ne balonda Sseruzzi eyatuziddwa wabula Kimeze kyawakanya eera nga ye akyeyita Ssaabanyala era naye yategese omukolo e Bbaale okukuza amatikirage aba ffamire kyebawakanya.
 
Mu bukukembeze bwa Kimeze nga Ssabanyala, ajukirwa nnyo okuteeka egwanga ku bunkenke, bwe yalemesa Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi Il okusala omugga Ssezibwa okulambula essaza lye erye Bugerere mu 2009, era abantu bangi ne bafiira munjege eno.
 
 
 

Share This Article
Leave a Comment