KCCA EREESE EBIMMOTOKA BYA KASASIRO 10 EBIPYA OKUSOMBA  KASASIRO MU KAMPALA 

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

14/8/2026

Mukawefube w’okuyonja ebitundu by’egwanga byonna,  ekitongole kya KCCA kyongedde kumwenddo gw’emmotoka ezigenda okusomba kasasiro mu division etaano ezikola kampala.

Vidiyo

Akulira KCCA Hajjati Sharifah Buzeki asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku KCCA n’abakulira kampuni eziyoola kasasiro mu Kampala,  nategezza nti gavumenti yabongedde ensimbi okugula emmotoka kumi eziyoola kasasiro kisobozese obwangu bw’okumalawo kasasiro akunganyizibwa ebbali w’enguudo ne kumbalaza z’ebizimbe  nga wegwaali mukulongoosa okwasooka kasasiro weyamala ekiseera ekinnene nga wabbali ku nguudo ekyajamawazza ekibuga Kamapala n’ebitundu ebirala 

Buzeki akutidde abantu obutamansamansa kasasiro buli wamu nga 29 eggwanga werigenda okudda okulongoosa ebitundu mu nteeka eyatumibwa National Cleaning day nga emikolo emikulu gigenda kubeera kuzikiti gw’e Kyaliwajjala mu Kira Municipality Wakiso disitulikiti .

Asabaye abantu okuyiwa kasasiro mu mmotoka ezigenda okubeera mu bifo gyebagenda.

Kubalowoza nti okulongossa kwegwanga kasasiro siwakusasulira nti mwerimba mutekedwa okumusasula nga ekiseera kyokulongosa nga tekinatuka.

Akutidde abakulembezze okuviradaala kubyalo okuutuka kumutendeera gwa citya hall okukunga abantu nokubasomesa engeri jebayina okusengekamu kasasiro ebivunda nebitavunda.

Share This Article
Leave a Comment