Abantu bakubirizziddwa okujjumbira okwewandiisa basobole okwetaba mu kalulu ka LC.

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

7/7/2026

Ssentebe w’e kyalo Namugongo Bulooli ekisangibwa mu division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira Sam Mayambala asabye abantu okugenda beewandise basobole okwetaba mu kulonda akalulu ka LC.

Mayambala ategezezza nti abantu balina okujjumbira okwewandiisa mu ligyesita y’ekyalo kuba yengeri yokka gyebanasobola okulonda ssentebe w’ekyalo gwebagala okubakulembera mu kisanja ekipya mu kulonda okugenda okubaawo nga 28 omwezi guno.

Alabudde abatuuze abanaagana okwewandiisa nti bagya kubakoze ensobi kubanga bagyakuba tebalina mukisa okwetaba mu kulonda ekigya okubakosa okufuna obukulembeze bwebagala.

Asabye abatuuze b’e Namugongo Bulooli okumulonda bamukomyewo ku kisanja eky’okubiri kubanga ekisanja kyamalako abakoledde ebintu bingi omuli okubagulira emmotoka ekola nga ambyulensi ,tenti ezikosesebwa mu mikolo egy’enjawulo nebirala bingi nga ku bino abatuuze kwebalina okusinziira okumulonda nga singa anamalako ekisanja eky’okubiri awo ajjakuvaawo yeyongere mu kifo ekirala mwanawerereza.

Bino Mayambala abyogeredde ku mukolo gw’ebyemizannyo gweyatuumye Mayambala Sam LC1 Namugongo Bulooli Sports Day ogwategekeddwa mu kibangirizi kya ppaaka ya loore okumpi ne kiggwa kya bakatoliki omwbadde emizannyo egyenjawulo abakadde n’abavubuka kwebolesezza ebitone .

Mu mizannyo egyoleseddwa mu baddemu okuzannya luddo nga omuwanguzi awereddwa kimeeme w’embuzi, emisinde gya basajja n’abakazi, empaka z’okulya emigaati ne soda , n’okulya ebindaazi nga abawanguzi mu mpaka zino bawareddwa amabaasa amazito.

Mukwogera ku mpaka ezo, Mayambala ategezezza nti azze ategeka empaka ezo nekigendererwa eky’okukutumbula ebitone mu bavubuka n’abakadde ekyongedde okubagatta ng’abatuuze ku kyalo,.

Ku mukolo gwe gumu gwetabiddwako abakulembeze ku mitendere eby’enjawulo omuli Sikuzaani Lwanga kkansala wa Kyaliwajjala 11 nga ono asiimye Ssentebe Mayambala olwokutegeka empaka zino kubanga zigasse abatuuze n’okutumbula ebitone. Ate kkansala Julie Mulwana kkansala akubirizza abakulembeze okuleka omukululo mu bifo byebaberaamu nga Mayambala bwakola kubanga kyongera ku nkulakulana y’ebitundu mwebawereza.

Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment