Ba Ssentebe ba LC 1 mu Kira Division balabuddwa obutakozesa sitampu mu bumenyi bwa mateeka

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

2/9/2026

Ssentebe wa division y’e Namugongo Gerald Kizito (NRM) alabudde ba Ssentebe ba LC1 obutakozesa sitampu ya kyalo mu bumenyi.

Kizito asabye ba Ssentebe okukozesa obulungi sitampu baleme okugikozesa obutakozesa mu ddiiru omuli ekibba ttaka nga bakola endagaano ezisoba mu emu ku ttaka n’okubagikozesa ku biwandiiko ebimenya a mateeka kubanga ebikolwa ebyo bigya kubatwala mu kkomera e Luzira babasibe

Abakuutidde obutaleeta byabufuzi nga bawereza abantu nga beekwasa nti waliwo abatabalonda,wabula bawereze nga tewali gwebasosodde batwale ebyalo mu maaso.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okulayizza ba Ssentebe b’e byalo 11 ebya kakkasiddwa akakiiko k’ebyokulonda ogubadde ku ssomero lya St Francis Primary School e Bulindo . ba ssentebe be byalo ebyo balondebwa mu butuufu bebalayidde wabula ebyalo ebirala 6 ebiwezza ebyalo 17 ebikola division y’e Kira tebalayiziddwa kubanga akakiiko k’e byokulonda kakyalina byekenenya olwa vvulugu eyalabikira mu kulonda okwaliiwo nga 28 July.

Okulayizza ba ssentebe kukuliddwa town Clerk wa division eyo Godfrey Muwanga Kasasa naye,akubirizza ba ssentebe okukozesa obulungi sitampu baleme okugwa mu buzibu obuyinza okubaviirako okusibwa,nabakuuutira okukubiriza abantu abantu abali mu bifo gavumenti weyagala okuyisa enguudo bakkirize baweeyo ettaka ebitundu byabwe bikulakulane, .

Kyokka ba ssentebe b’e miruka ebiri egikola Kira division okuli Kimwanyi ne Kira ababadde balina okulayizibwa ne banabwe aba LC1 , bayimiriziddwa olw’ekiwandiiko ekyavudde mu kakiiko k’e by’okulonda nga kigamba nti akakiiko ensonga z’ekakyetegereza webanamala ba ssentebe b’e miruka nabo bagya kulayizibwa mu mateeka.

Wabula abamu ku ba ssentebe abalondeddwa okuli Winters Nkangi owa Buwaate. ategezezza nti agenda kutandikira weyakoma mu kisanja ekiwedde kubanga alina bingi beyasubizza abantu abantu weyali abanoonyamu akalulu omuli okusimba emiti n’ebirala

Ate Charles Luyombya Kawaddwa ssentebe wa Kira agambye nti kino kye kisanja kye ekisembayo nga ssentebe w’e kyalo,ekisanja ekigya agenda kuvuganya ku bwa ssentebe wa LC 111 owa Kira Division kubanga obusobozi abulina.

Share This Article
Leave a Comment