Abadde difensi w’e Kyalo Busibante alaze byatandikirako ng’awangudde obwa Ssentebe ku kyalo Busibante

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

15/7/2026

Sulait Nsumba abadde difensi w’e kyalo Busibante ekisanja mu Najjera mu division y’e Kira mu Kira Municipality alaze byatandikirako ng’awangudde obwa Ssentebe.

Nsumba agamba yesowoddeyo avuganye ku kifo ky’obwa Ssentebe ku kyalo Busibante oluvannyuma Sam Kibalama abadde ssentebe w’ekyalo ekyo okummala ebbanga lya myaka egisoba mu 20 okutegeeza nga watagenda ku ddamu kwesimbawo

Nsumba agamba agidde ku kkaadi ya DP era asuubira nti yaasanidde okubeera ssentebe w’e kyalo kino addako olwo bumanyirivu obungi bwafunye ng’ayita mu ofiisi gyabaddemu ey’ebyokwerinda ku kyalo.

Nsumba agamba asakidde ekyalo kye ebintu omuli enguudo nekalonda omulala y’ensonga asubira nti yalina okuddako okukulembera ekyalo.

Nsumba agamba nti kyalo Busibante kirimu abantu abantu abasoba mu 30, 000 n’amaka agasoba mu 4000 nakyo kirimu abagagga nabali wakati mu by’enfuna .

Mungeri yeemu ayongedde nti obukoddyo bwazze akozesa okumalawo obumwnyi bwa mateeka bwebumu bwagenda okukozesa okuwangula akalulu k’obwa ssentebe kubanga akimanyi mulwakaano mulimu bangi abasoba mu 5 naye bonna agenda kubamegga.

Nga kino yakilazeeko weyakunze abantu nebagenda nebewanddiisa mu lukalala lw’ekyako ab’ebyokulonda lwebagenda okukozesa mu kulonda.

Bya Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment