10/7/2026
Banauganda bonna bakubirizidwa okwetanira okukozesa techinologiya kibayambeko okubaguyiza ku Mirimu ate era n’okutumbula enkulakulana ye eggwanga.

Minister omubeezi avunanyibwa ku nkulakulana n’okutekeratekera eggwanga Amos Lugoloobi bino abyogeredde mu lukungana lwa banamawulire ku media centre mu Kampala nga ali wamu ne Kitongole ekivunanyizibwa ku tekeratekera eggwanga ki “National Planning Authority wakati nga Uganda yetekateka okwegata ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obungi bwa bantu ” International Population day” olukuzibwa buli nga 11 ogwo musanvu.

Nga ebikujuko byo lunaku luno byakuyindira ku mitimbagano gya mawulire nasaba abantu bonna okubyetabamu.
Minister Logoloobi ategezeza nti singa abantu banetanira okukozesa techinologiya kyakuyamba Uganda okukulakulanira ku speed eyayiriyiri.

Mu buffu bwebumu Minister agambye nti Uganda erina ebirubirirwa ebyenkulakulana biyitirivu, naye nga ekubo erinagiyamba okubitikiriza kwekweyambisa Techinologiya.
Bya Mugula Dan

