Minisita ayimirizza bbaasi za kampuni ya Nile Star

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Minisita omubeezi ow’ebyentambula Fred Byabakama ayimirizza bbaasi za kampuni ya Nile Star okumala ebbanga lya mwezi gumu nga tezisaabaza bantu oluvanyuma lw’okukizuula nti obubenje bwonna obuzze obugwa ku makubo buvudde ku bulagajjavu lwa baddereeva baazo ate kampuni terina kyekoze kutaasa mbeera eno. Bbaasi zino okudda ku kkubo , waliwo obukwakkulizo obulina okutuukirizibwa mu bbanga ery’ennaku 30 Kinajjukirwa nti omwezi guno 4/5 2026

Abantu musanvu bakakasiddwa nga bafudde oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku luguudo akatta abantu nga kazingiramu bbaasi eya Nile Star Coaches ne trailer mu Disitulikiti y’e Nwoya.

Okusinziira ku mwogezi wa Poliisiy’ebidduka, Michael Kananura, yategeeza nti akabenje kano kaagwawo ku ssaawa nga 1:15 ez’oku makya nga May 4, 2026, ku kyalo Lapok Mor, bbaasi ya Isuzu nnamba UBP 736U eyawandiisibwa bwe yatomeraganye omutwe ne Benz Actros trailer registration SSD 040A/SSD 498C eyali ejja.

Share This Article
Leave a Comment