Bannansi ba Nigeria babiri bakwatiddwa Poliisi y’ensi yonna wano mu Uganda

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Bannansi ba Nigeria babiri bakwatiddwa ku biteeberezebwa nti bakukusa enjaga nebagitundira mu Uganda. Bano Poliisi y’ensi yonna ebakwatidde Kisoro mu ggombolola ya Nyakabande mu muluka gwe Gasiza ng’okukwatibwa kiddiridde abatuuze okwekengera enneeyisa yaabwe nebabagulizaako Poliisi.

Omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, Simon Peter Mundeyi akakasizza amawulire gano era n’ategeeza nti bano basangiddwa n’emmundu wamu ebyambalo by’amagye nga kati batandise okunoonyereza okumanya bebabadde bakolagana nabo

Bya BBS

Share This Article
Leave a Comment