8/6/2026
Loodi Mmeeya wa Kampala Eng Ronald Balimwezo Nsubuga n’abakulembeze ba KCCA baagala okugoba abantu mu ntobazzi kuyimirizibwe mu bwangu, nga bavumirira ekya gavumenti okuliyirira abantu Siliingi akakadde kamu.

Balimwezo avumiridde enteekateeka ya gavumenti eya wakati egenda mu maaso ey’okusengula abantu mu ntobazzi, n’asaba wateekebwewo enteekateeka entegeke ez’okusengula abantu mu kifo ky’okugabira abantu ssente enkalu. Yavumiridde kye yayise okussa mu nkola amateeka agafuga obutonde bw’ensi mu ngeri ey’okulondamu.

Ono mwennyamivu nti aba NEMA bwebaabadde bamenya n’okusengula abeesenza mu ntobazzi waliwo bebaaleseemu kyalumiriza nti mwabaddemu obusosoze!

Kitongole ky’obutondebwensi mu ggwanga ki NEMA kiyimirizza ebikweketo by’okusengula abeesenza n’abakolera mu ntobazi nekibawa nsalessale wa nnaku 30 okusenguka nga tebakakiddwa.

NEMA etegeezezza nti ekkaanyiza n’abakulira ekitongole kya Kampala ki KCCA abeeyamye okwogerezeganya n’abantu bave mu ntobazi ate NEMA erambe ebifo entobazi gyeziyita ku lw’enteekateeka ennungi.

Bya Mugula Dan

