22/6/2026
Poliisi e Mbale ekutte omusumba w’Abalokole Hassan Wabutwa abitebye oluvannyuma lw’omuwala Evaline Adongo ow’emyaka 19, ng’ono muyizi ku Gill Sherlock Memorial Secondary School abadde apangisa ku gimu ku mizigo egye egisangibwa mu Namabasa Zone 3A okukubwa amasannyalaze nga agolola naafiirawo.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kino, Rogers Taitika agamba nti kyazuuliddwa nga amasanyalaze g’ennyumba zino bwegayungibwa mu bukyamu nga n’ omusumba ono abadde abba mabbe ekintu ekimenya amateeka. Taitika ategeezezza nti ono wakuvunaanibwa bwatyo naalabula abantu okwewala okubba amasannyalaze kuba kyabulabe.
Bya Mugula Dan

