Ssaabaminisita Nabbanja alaze byatandikirako mu kisanja ekipya
11/6/2026
Ssaabaminisita Robinah Nabanja Musafiri akuutidde ba minisita banne abaawereddwa,obuvunanyizibwa obw’enjawulo obuteyawulamu nga bawereza banna Uganda.

Nabbanja okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okuddizibwa ofiisi gyabaddemu mu kisanja ekiwedde. Yategeezezza nti mu kisanja kino agenda kwongera amanyi ng’akolerawamu n’ebitongole ebirala okulaba ngabatuukirizza obuwereza obukungi eri abantu.
Yateategezeza nti ba minisita bonna abalondeddwa bagenda kutwalibwa e Kyankwanzi okuva nga 14 omwezi guno okutuuka nga 24 babangulwe n’okubasomesa mwoyo gwa ggwanga.

Abalala abaawadeyo ofiisi kuliko Dr. Chris Baryomunsi eyabadde minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga eyalondeddwa nga minisita w’ebyobulamu omugya nga ofiisi yagikwasizza Justine Kasule Lumumba eyafuuse minisita w’ebyamawulire omugya.
Ate minisita omubeezi w’ebyamawulire Joyce Nabbosa Ssebugwaawo naye eyabadde ku mukolo yebazizza Pulezidenti Museveni okumuddizza ekifo nawera nga bwebagenda okukolera awamu naddala mu kwongera amanyi mu yitanenti bagibunye ebitundu bye ggwanga eby’enjawulo
Wabula wade abamu bafunye akamwenyumwenyu olw’ebitibwa ebyabawereddwa, abamu ku bakulembeze ku byalo okuli Ssentebe w’ekyalo Kasaato ekisangibwa mu Kisenyi mu Kampala
, Sande kiwana Nkoyoyo asabye ba minisita obutegulumiza, wabula basigale kye bali bawereze banna Uganda mu bwenkanya.
Bya Mugula Dan

