Omubaka wa Nakaseke North County Addukiridde Abalimi N’ebikozesebwa mukulima

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

22/7/2026

Omubaka we Nakaseke North county, Pulofeesa Wilber Manyisa Ahebwe, awabudde abantu be nakaseke North  ku nsonga yobulimi n’bulunzi bw’asabye buli asalawo okubiyingira okuwaayo obudde okusobola okufunamu.

Obulimi n’obulunzi birimu  ssente kasita owaayo obudde, wabula mpulira nnyo abantu abagamba nti okulima kuzibu, bangi ku bano bayingira obulimi n’obulunzi nga tebetegese kuwaayo budde kulambula bye balima, tewali kintu ky’oyinza kufunamu okuggyako ng’okyemaliddemu,kyetuva tukubiriza abantu okulimira ku mutindo basobole okufuna mu maanyi gaabwe” Pulofeesa bwategeezezza

MU ngeri y’emu omubaka bw’abadde agabira abantu be Karyaburo ne Kakli  ensigo z’akasooli  akubirizza abantu  ba Nakaseke  okusoosowaza  ennyo obulimi n’obulunzi kuba byebirimu ssente.

Ono agambye nti kino kitundu ku kwewaayo kwe okukyusa ebyenfuna okuyingiza abantu baffe mu by’enfuna bya ssente ng’ayita mu bulimi obuvaamu ebibala.

Pulofeesa ategeezezza abatuuze nti  mu bbanga ttono ebibinja ebirala bijja kufuna ensigo z’emwanyi eri abalimi saako ebiyumba byy’enjuki eri abavubuka abali mubulunzi buno.

Era omubaka yasuubiza abatuuze ente ennume ez’omutindo ku nte abalimi abamu olw’okulunda obulungi.

Omubaka yakatirizza nti okuweereza abantu kwe kusooka kuba gyagala omutindo gw’ebyobulamu mu Nakaseke gusituke, n’byobulimi , saako nokwatagana  wamu n’abakulembeze bonna okulaba nga obuweereza obw’omutindo ku bantu ba Nakaseke ,era yebazizza obujjumbize abantu bwe balaze okwettanira obulimi n’obulunzi.

Pulofeesa Wilber yasabye abantu ba Nakaseke  abakola emirimu egy’enjawulo okumanya nti newankubadde balina bye baasoma oba emirimu emirala gye bakola,  basobola n’okuggattako obulimi n’obulunzi ne babikola nga omulimu era eky’okulabirako abawadde ensigo .

Wanno abantu be Nakaseke  beyanzizza Pulofeesa olw’enteekateeka eyokugaba ensigo eri abalimi saako nokubasomesa okwetanira okulima okuvamu ssente.

Share This Article
Leave a Comment