26/8/2026
Abatuuze ku kyalo Kito B ekisangibwa mu division y’e Bweyogerere mu Kira Municipality basiimye akakiiko k’e by’okulonda mu ggwanga okuwulira okwemulugunya kwabwe kwebatekayo nga bemulugunya ku byava mu kalulu ka LC1.

Bano basinzidde ku ofiisi z’ekyalo ssentebe Godfrey nebakwata ebipande ebiriko obubaka obusiima akulira eby’okulonda mu ggwanga omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi kubanga yategedeee ekituufu nti nga 28 abantu webalonda ba ssentebe babwe tebalonda kubanga ku lunnaku olwo abantu basimba emabega wa Godfrey Kaggwa ssentebe aliko kyokka omu ku ba kadidenti owa NRM Nabaasa Christopher neyekandaga nava mu layini ekyatataganya eyali akuliddemu okulondesa okulonda nekuyiika.
Akulira eby’okulonda yalangirira akalulu kadibwemu nga 29 kyokka ku lunnaku olwo era abantu balemererwa okulonda kubanga poliisi yabakubamu ttiyagaasi kyokka ate abakuliramu okulondesa nebakola olukujjukuju nebalangirira Nabaasa nga omuwanguzi oludda lwa Kaggwa bye bawakanya nebatwala okwemulugunya kwabwe eri ofiisi ya Balaam Barugahara minisita wa gavumenti z’e bitundu ne ofiisi ya Byabakama eyalaba obutambi nakakasa nti ekyalo Kito B tekyalonda nti akalulu kalina okuddibwe ekisanyudde abatuuze

Abatuuze kati bagala Byabakama alangirire mangu olunnaku lwebanaddamu okulonda abantu baddemu balonde omukulembeze wabwe gwebagala.
Ssentebe w’e Kyalo kino Kagwa agamba nti bayise olukikko luno kubanga kadidenti omu yadduka nebalangirira e abweyogere kuba tewali kubala wabula okwemulugunya kwabw akakiiko kabazeemu kati bagala akakiiko kalangirire olunnaku lwokulonda kubanga eyalangirirwa yeyita ssentebe ekitali kituufu kubanga abuzabuza abantu
Kagwa agamba bagala akakiiko kalangirire olunnaku lwebanaddamu okulonda bawonye abantu okugwa mu buzibu okuva mu ba ssentebe abafere.
Nsubuga Ali Maganda difensi we kyalo B,agamba nti bafuna obuzibu nga balonda kubanga Nabaasa Christopher yekandaga bweyalaba nga Kaggwa alina layini nnene, kyokka 29 olunnaku lwebalina okuddamu okulonda, waliwo ekibinja kya baserikale abava e Kira nga nali ne Dpc we Kira nakagira nti eby’okulonda bigaanye nebalangirira omulala owa NRM kwekutekayo okusba kwe akakiiko nekabawulirizaa.

