26/8/2026
JUDITH Kanyena omu ku bakunzi mu kibiina kya NRM asabye banna kibiina kya NRM mu Kira okukomya okwelwana wamu n’enkwe bakolera abantu mu bitundu byebakulembera.

Kenyena ategezezza nti okwelwenyisa okususse mu bakulembeze ba NRM munda mu kibiina kizizza emabega obuwereza gavumenti bwesindika wansi mu bantu okwekulakulanya kyokka etekateeka zino omuli PDM, YLP, UWEP, EMYOOGA nendala obutatuuka wansi mu bantu nekivumaganya gavumenti ya pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni , ku banga olw’entalo enyingi abakulembeze ba NRM abali mu bitundu nebalemererwa okuzisomesa abantu nokubasakira kubanga obudde obusinga babumula mukulwanira bifo.

Ategezeza nga bwebakooyo abafere aberimbika mu NRM nebavumaganya ekibiina nasaba abakikola kikome abantu baganyurwe mu buwereza bwa bakulembeze.
Ono bino abyogeredde ku mukulo nanyini kifo ekisanyukirwamu ekya Kiganda Gardens Denis Arinaitwe wakakasirizza abawagizi ba NRM nga weyegasse ku NRM empya ng’avudde mu NRM enkadde ebaddemu ebirumira ku mukolo ogusombodde abanene ku mitendera egyenjawulo nebanna Kireka D.

Bino webijjidde ng’akakiiko akavunanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga, kasazizaamu obuwanguzi bwa Umar Muyanja owa NRM eyali alangiriddwa nga ssentebe wa LC1 Kiraka D ng’awangula Wiliam Kibira eyali ssentebe nga ne Arinaitwe y’omu kubaavugana mu kalulu ako wabula, natamattira nebyava mu kalulu naddukiira mu kakiiko k’ebyokulonda nalopa vvulugu eyeetobekera mu kulonda ekyawalirizza akakiiko okusazaamu obuwanguzi bwa Muyanja nga Arinaitwe agamba abeby’okulonda bakozesa register ya NRM wabula siyabalonzi b’ekyalo abewandiisa kubanga abasinga basigala wabweru nga amanya gabwe tegasomeddwa.
Denis Arinaitwe eyayanjuddwa mu butongole mu kibiina kya NRM ategezezza nti omulwamwa gw’omukolo

gubadde gwa kuteegeeza bantu nga akakiiko k’e by’okulonda wekasazizaamu obuwangunzi bwa Umar Muyanja eyabba akalulu ng’akozesa ebitingole bya securite ekyamuwalirizza okuddukira mu kakiiko k’e by’okulonda neyekubira enduulu ,akikko nekakozesa obujulizi bwe okusazaamu akalulu era nga omusangogwe gw’abadde gw’akubiri mwejjo egyasoose okukolwako mu ggwanga nategeesa nti kisa kya Katonda sikozesa nguzi ng’abamu webabadde babyogera kwosa okuwakanya ekiragira kya EC nga bagamba byakifere era ono yagabidde abatuuze copy okuli ensala za kakiiko keby’okulonda.
Arinaitwe ategezeza nga ekikolwa kya EC okusazaamu Muyanja owa NRM kyamusanyusizza nnyo y’e nsonga lwaki asazeewo okwegata ku NRM guayise empya mu bujjuvu kubanga akizudde nti ekibiina kya mazima na bwenkanya era nasaba Minisita wa gavumenti z’e bitundu Balaam Barugahara ku lunna lwebanaddamu okulonda babawe abalondensa okuva mu bitundu ebirala bebanasabola okulondesa mu mirembe nga tebalina kyekubiira era nategeeza nga akalulu bwakyakalimu.
Omukolo guno Arinitwe bamuwereddeko ekitabo ekiraga ebintu NRM byekoze myaka 40 gyemaze ng’ewereza banna Uganda nga ono yeyamye okukozesa ensimbize okusobola okwagazisa abantu be Kiganda ne Kasokoso yenna ekibiina kya NRM era nasaba abakulu okukuba olukiiko lw’ekibiina mu Kitundu basobole okwogera n’abantu kubikwata ku kibiina wamu n’okukiyingizaamu abantu abajja.
Ku mukolo guno kwetabyeko ssentebe wa Namugongo Division Moses Haumba eyaambaze ebyabadde bimwogerwako nga bweyabadde alemesa omukolo guno okugenda maaso nategeeza nti tasobola kulemesa mukolo gw’akibiina kye kubaawo ate nga gugendereddwa nakuyingiza ba memba abapya.

