Gavumenti eragiridde okufufuggaza abbabi b’ente mu bitundu bye Mbarara, n’erabula nti omuze guno gutyoboola enyingiza y’amaka ne enkola ya Parish Development Model (PDM) n’enteekateeka y’eggwanga ey’okutondawo obugagga mu bantu. .

Nga ayogerako n’ebannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala olwaleero Minisita w’Eggwanga avunaanyizibwa ku ensonga z’Obwapulezident Milly Babalanda,agambye nti gavumenti yeeraliikirivu nnyo olw’amawulire agakwata ku bubbi bwe’nte obweyongera, buli lunaku mubitundu bye Mbarara ekirese amaka g’abalimi bangi nga gafiiridwa nnyo.

Yagambye nti ente gwe mugongo gw’ebyenfuna mu Ankole n’ekitundu ekinene eky’amaserengeta ga Uganda, n’ategeeza nti obubbi bw’ebisolo busukka obumenyi bw’amateeka obwa bulijjo kubanga bunyagulula amaka ssente zonna zebatademu okumala emyaka n’okulemesa kaweefube wa gavumenti okumalawo obwavu.
Okusinziira ku minisita, ezimu ku ente ezibbiddwa abatuuze bakozesa ssente okuva mu nteekateeka ya Parish Development Model, enteekateeka ya gavumenti enkulu egendereddwamu okuyamba amaka agali mu mbeera embi okuzimba eby’okweyimirizaawo nga mwebagenda okugya obugagga.
“Abamenyi b’amateeka bwe babba ebisolo ng’ebyo, baba basaanyawo emu ku nteekateeka za gavumenti enkulu ez’okukyusa embeera z’abantu n’ebyenfuna ne balemesa kaweefube wa Bannayuganda abakozi abafuba okutumbula obulamu bwabwe,” bwe yagambye.
Babalanda yalagidde ba RDC,RCC, DISOPoliisi ne UPDF n’obukiiko bw’ebyokwerinda mu disitulikiti okwetoloola Greater Mbarara okusituka okulwanyisa obubbi bw’ente n’okunyweza eby’okwerinda eri abatuuze n’okussaawo ebikwekweto ebikwasaganyizibwa ku mikutu gy’abamenyi b’amateeka abakwatibwako.
Era yalagidde Poliisi ya Uganda okwongera amaanyi mu bikwekweto ebikulemberwa abakessi, okwongera okulawuna, okunyweza okunoonyereza n’okukwatta
ebibiina ebiri emabega w’obubbi buno.
Minisita yasiimye ttiimu y’ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Mbarara ng’ekulembeddwaamu RDC Nicholas Mugarura n’omuduumizi wa Poliisi mu disitulikiti eno olw’ebikwekweto bye yayogeddeko nga bituuse ku buwanguzi ebivuddeko okukwata abantu abasoba mu 20 abateeberezebwa okuba nga beekuusa okubba ente.
Okunoonyereza kwa gavumenti kuzudde nti ente enzibe nnyingi zitundibwa munda mu Uganda naddala mu disitulikiti y’e Mitooma ne Kasese, ate endala kigambibwa nti zikukusibwa okuyita ku nsalo y’amaserengeta ne ziyingira mu Democratic Republic of Congo.
Mu kwanukula, Babalanda yalagidde ba RDC, abaserikale b’ebisolo, abaduumizi ba poliisi n’abakulira disitulikiti e Mitooma ne Kasese okunyweza mu bwangu amateeka agafuga entambula y’obulunzi.
Yalagidde nti tewali bisolo bisaana kutambuzibwa oba kusuubulibwa nga tebirina lukusa lutuufu olw’okutambula n’obukakafu obulaga nti obwannannyini bwabyo, n’agattako nti obutale bw’ebisolo, emiryango gy’entambula n’ebifo eby’okwerinda birina okukeberebwa okw’amaanyi.
Minisita yayongedde okulabula nti omuntu yenna anaasangibwa ng’atambuza ente, ng’agula oba ng’akwasaganya okutambuza ente nga talina biwandiiko byetaagisa wakukwatibwa n’okuvunaanibwa nga we kyetaagisa.
Era yajjukizza abaduumizi ba poliisi nti gavumenti yatadde ssente nnyingi mu pikipiki okutumbula entambula n’okukola amangu mu byalo, n’abasaba okuteeka mu bujjuvu ebyuma bino okukuuma ebitundu by’abalimi nga bayita mu poliisi okuziyiza obumenyi bw’amateeka mu ngeri ey’obwegendereza.
Babalanda yalaajanidde abalunzi b’ente okunyweza obukuumi ku ku nte zaabwe, n’okuloopa amangu abantu ssekinnoomu abateeberezebwa, mmotoka oba entambula z’obulunzi ezitali za bulijjo.
Era yasabye abakulembeze b’olukiiko lw’ebitundu, Abaami, abaserikale b’ebyokwerinda mu Gombolola n’obukiiko bw’ebyokwerinda mu kitundu okukolagana obulungi ne poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda mu disitulikiti, n’agamba nti ebitongole ebikessi mu kitundu bikyali bikulu nnyo mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka,
Minisita yasabye abantu okuwaayo amawulire agakwata ku bateeberezebwa okuba ababbi b’ente,
Yagumizza abalunzi b’ebisolo nti gavumenti eywezeza ebyokwerinda okwetoloola Greater Mbarara nga kino kigendereddwamu okuziyiza emikutu gy’abamenyi b’amateeka, abbabi ente.
Babalanda agamba nti okukuuma ebisolo by’abalimi kyetaagisa nnyo gavumenti bw’eba egenda okutuukiriza ebigendererwa by’enkola ya Parish Development Model, ebyobulimi eby’obusuubuzi n’okutondawo obugagga mu maka.
Bya Mugula Dan

