Abadde omubaka wa America mu Uganda, H.E. William W. Popp amalirizza emirimu gye mu Uganda era asiibulwa mu butongole nga asiibuddwa omukulembeze w’eggwanga KagutaMuseveni .

Omukolo gw’okumusiibula gubadde mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero era Pulezidenti Museveni amwebazizza olw’okunyweza enkolagana ya Uganda ne America kwossa ebirungi ebirala ebituukiddwako mu buweereza bwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abakungu ab’enjawulo omubadde ne Minisita omulonde ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga,
Bya Mugula Dan


