Olutalo wakati wa Dr Muganga n’amyuka Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa lukyalanda.

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Amyuka Cansala wa Victoria University, ReachDrMuganga   avuddemu omwasi ku by’obutuuze bwe obutankanibwa nga buno kuliko obwa Rwanda, Canada ne Uganda.

Dr, Muganga ategeezezza nti kino ssi kyekyamulemessa okukakasibwa ku Bwaminisita wabula lyabadde kkobaane ly’Amyuka Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa eyamulimye empindi ku mabega okukakkana nga ababaka bagaanye okumukakasa ku Bwaminisita omubeezi w’ensonga z’omunda mu ggwanga.


Muganga alumiriza nti Tayebwa teyatumye wabula ye kennyini yeyamutegeezezza nga bwewalina okubaawo asaddaakibwa ku Baminisita Pulezidenti babeera alonze nga ku luno ekitimba kyakutte ye.

  Obubaka buno abutadde ku kibanja kye ekya X nakinongaanya nti ye munnyarwanda eyazaalibwa mu Uganda era munnansi omujjuvu ssi munnansi wa Rwanda ne paasipooti yaayo tagirina nga bwebibungeesebwa.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment