Meeya w’e Nakawa ne Bakkansala b’e balayiziddwa
Abagala obwa sipiika beeswanta
26/5/2026
BYA MUSASI WAFFE
Omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa Allan Mpiirwe Gakyalo alayizza meeya w’e Gombolola y’e Nakawa Ali Bukeni (Nubian Li ) ne bakkansala be nebawera okukolera awamu.

Omukolo gubadde ku Kkanisa eri okumpi n’ekitebe ky’e Gombolala eyo wakati mundulu ebadde eva mu bawagizi ba bakkansala obwedda ababawerekerako okutuusa ku katuuti kwebakubidde ebirayiro, era nga gwetabiddwako omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi , sipiika wa KCCA John Mary Ssebuufu, nebikonge ebirala okuva mu bibiina ebyanjawulo.
Buli kkansala obwedda amalirizza okulayira town clerk wa Nakawa Moses Ssempa ng’amukwasa ssemateeka wa KCCA nebirala bimuyambeko okumanya entambula ya Kanso.
Ba kkansala abagenda okukiika mu kanso eno bali 47 nga NRM erina 23, Nup 17 ate 7 tebalina kibiina kwebajidde .
BA KKANSALA BAWERA KUFUNA BIFO
Rose Catherine Mpayenda owa NRM kkansala omukyala owa Bukoto 111 olumaze okukuba ebirayiro nawera nga bwagenda okwesimba ku kifo ky’omumyuka wa sipiika w’e Gombolola y’e Nakawa, era obwedda akubgaanya ba kkansala banne okuva mu bibiina eby’enjawulo ng’abakunga bamulonde ku kifo ekyo nga 28 abasakire ng’ayita mu ofiisi eyo.

Mpayenda ategezezza nti mukazi mukozi era singa banamuteekamu obwesige kanso eno egenda kubeera ku mutindo ogwa waggulu kubanga amanyi eky'okukola.
Ate Mudasi Joseph owa Naguru 1 naye awera okukola ku myala, nokutekawo olutindo wakati KCCA wa basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa keyakulemberako okulaba nga bafuna obuwereza obulungi ng’ayita mu kubasakira ssente omuli ez’emyooga me PDM.Ate Ismail Mukoiko akikirira parish y’e Banda agamba nti ennaku ezisooka 100 zakwekulakulanya eby’obufuzi byawedde.
Loodi meeya wa Kampala Saalongo Ronald Balimwezo asabye ba kkansala ne meeya wa Nakawa Bukeni bakolera wamu basobole okukulanya ekitundu kya bwe basobole okwekulanya agambye nti.
Ate meeya Nubian akakasizza nga wegenda okukola ne buli kkansala wadde siwa kibiina kye kya NUP basobole okukolera awamu Nakawa akulakulane.


