Enteekateeka za Museveni okulayira ziwadde

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

Minisitule evunanyizibwa ku nsonga zo mukulembeze we ggwanga efulumiza entekateka ezinagobererwa nga omukulembeze we ggwanga Kaguta Yoweri Museveni alayira okukulembera Uganda ekisanjja ekyo musanvu.

Nga emikolo egy’okulayira gyakubawo nga 12 omwezi guno mu kisawe kye mikolo e Kololo mu Kampala.

Minisita Milly Babirye Babalanda asinzidde mu lukungana lwa banamawulire olwetabidwako ne ssabawandiisi we kibiina kya NRM Richard Todwong.

Minisita ategeezezza nti olunaku luno lwankizo nyo eri bannauganda era lwakutambulira ku mulamwa Ogugamba nti ” okukuma byetusobodde okutuukako ate n’okutambula okutuuka ku bugaga obwa namadala.

Minisita Milly Babalanda ategezeza nti ebikujuko  byokulayira byakutandika esawa biri ezo kumakya, nga byakwebwaako abagenyi abayite Okuva wano mu ggwanga saako emitala wa mayanja.

Mungeri yemu Hon Milly Babalanda alambuludde ne kubukulembeze bwa president Museveni gy’ebwatandikira era nabiiki ebitukidwako.

Ono agamba nti bukulembeze buno ebintu bingi ebiretedwa era nga bizamu banauganda esuubi.

Mungeri y’emu Minisita w’Obwapulezidenti Milly Babalanda alangiridde okusaba mu ggwanga lyonna nga beetegekera okutuuzibwa ku matikkira, nga kugenda kubeerawo ku Lwokutaano mu mizikiti, ku Lwomukaaga mu kkanisa z’Abadiventi ez’omusanvu, ne ku Ssande mu kkanisa z’Abangereza n’Abakatoliki, Philip Wafula bw’ategeezezza.

Ate ye Ssabawandiisi wa NRM Richard Todwong bwabuzidwa ku bigenda byogerwa nti ebikujuko bino byakuwementa obutitimbe bwe nsimbi, ategezeza nti Ensimbi zonna ezinasasanyibwa ku mikolo gino ziri mu mbalira ya gavument era nga ziri mu mateeka, nti nga aba kibiina tebalina Sente zebagenda kutekamu.

Ono ategeezezza nti nga 12 ,5,2026 lwakubeera lwakuwuumula lwa Yoweri Museveni okulayira ekisanja  eky’omusanvu mu kulondebwa, Ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong bw’ategeezezza. Abagenyi nga 40,000 be basuubirwa mu kisaawe kya Kololo Independence Grounds, nga kuliko abakulembeze b’amawanga 35, bannamawulire 30, n’ababaka okuva mu bibiina by’okununula eggwanga nga African National Congress, Chama Cha Mapinduzi, ZANU–PF, FRELIMO, ne Rwandan Patriotic Front. 

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment