Paalamenti ey’ekkumi n’ebiri yeetaaga omumyuka wa Sipiika asigala ku mulamwa omwetegefu okuweereza-Marshall

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Omubaka owa Disitulikiti y’e Jonam County Marshall Alenyo alangiridde okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti ey’ekkumi n’ebiri, nga yeeyama okuzza obwesige bw’abantu mu lukiiko nga bayita mu kulwanyisa obuli bw’enguzi. 

 Marshall Alenyo agamba nti enteekateeka ye ey’obukulembeze egenda kussa essira ku kutumbula obwerufu, obuvunaanyizibwa, n’obwesimbu mu Palamenti.

Nkowoola ababaka bonna abalanyide,  okumpagira fuuke omumyuka wa sipiika wa palamenti ey’ekkumi n’ebiri bw’ategeezezza .

Obukulembeze tebutegeeza masuuti ge twambala oba ebisenge bye tutuulamu, butegeeza mirimu gye tukola mu Palamenti Nga abalala essira balitadde ku nsimbi nze   nsimbye emirandira mu kuweereza Bannayuganda bonna  n’okukuuma ekitiibwa kya Palamenti nga sekusiza nga ze Alenyo bw’agambye .

Alenyo agamba nti omumyuka wa Sipiika omutuufu alina okuba omukuumi. Nga bwe nnyimiridde wano nga ntunuulira Palamenti, ndi mwetegefu okuyimirira mumazima n’obwekanya okukuuma ekitiibwa kya Palamenti yaffe n’eby’obugagga bya buli muwi wa musolo Munnayuganda.

Tikiti yange eya nrm kye kisuubizo kyange, ndi mukulembeze w’abantu, ku lw’abantu, era ndi mwetegefu okukulembera n’obwegendereza n’obugumu bwe bumu bwe ndaga wano mu kifo abantu bange ky’ebanodedemu. Ku lwa Katonda n’Ensi Yange Alenyo, bw’ategeezezza

 

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment