Bannansi ba Rwanda Babiri bakaligiddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 3

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

OMWEZI 5/5/2026

Bya Mugula Dan

Bannansi ba Rwanda babiri, Festo Katanye Mugabe ne Nathan Karamuzi Kadogo ababadde balimba abantu nti balina eddagala eriwonya mukenenya era nebalibaguza obuwanana bw’ensimbi bakaligiddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 3 oba okusasula engassi ya 300,000. 

Bano omusango ogubasindisizza mu nkomyo gwa kusasaanya bulimba ku bulwadde bwa mukenenya nga kizuuliddwa nti eddagala lyabwe babadde balitunda wakati w’ensimbi 150,000 ne 300,000. 

Omusango gubadde mu Kkooti y’eddaala erisooka e Masaka wansi w’omulamuzi Abdallah Kayiza nga abakwate bakkirizza omusango guno era ekibonerezo kyabwe nekikendeezebwako mu nkola eya ‘Plea Bargain’. 

Eddagala lyababadde batunda liweereddwa ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority okwekebejjebwa

Share This Article
Leave a Comment