Ekibiina ki NRM kiyise ababaka abaagala ekifo kya Sipiika wa Palamenti n’omumyuka we okuteekamu okusaba kwabwe.

obutasukka nkya nga 23 ku ssaawa 11 ez’olweggulo.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr. Tanga Odoi agambye nti abanassaamu okusaba kwabwe baakutibibwa oluvannyuma olukiiko lw’ekibiina olw’okuntikko CEC lusalewo ekyenkomeredde ku Sunday akawungeezi.

Kino kiddiridde ensisinkano ya bammemba ku lukiiko olw’okuntikko olw’ekibiina ekyo nga birangiriddwa akulira eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi.
Bya Mugula Dan


