LANDI LOODI AZIRIKIDDE MU KKOOTI WEBADDE EYIMBULA OMUPANGISA EYESENZE EWUWE. 

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

7/7/2026
 KIRA.
 
OMULAMUZI wa kkooti ento e Kira Winnifred Agelun asanze akaseera akazibulandi loodi bwazirikidde mu kkooti  bw’abadde akubiriza olutuula lwa kkooti abafumbo ababiri webavunanibwa okuyingira mu nnyumba ya landi loodi nga tabawadde lukusa wamu n’okujingirira ebiwandiiko ebiraga nti basasula ennyumba eno.

Denis Arinaitwe nga Mutuuze w’e Kireka D gyalina amayumba g’abapangisa yyadukira mu kkooti naloopa abafumbo Francis Otayi 43 ne Mary Adongo 30 ng’abalanga okwesenza ku nyumbaye okuva mu mwaezi gwa October 2025 nga tabawadde lukusa kwosa okujingirira ebiwandiiko ebiraga nti bamusasula ensimbi kwosa okumupatiikako emisango egyenjawulo wabula nga emisango jino bagyegaana wabula omulamuzi nabasindika ku mere e Luzira.

Land loodi Arinaitwe

mukuwulira omusango guno Omuwaabi wa gavumenti yategezeza kkooti nga fayiro emu okuva ku poliisi wetanaba kuletebwa mu kkooti omusango okutandiika okuwulirwa era nasaba omulamuzi omusango guno gw’ongezebweeyo nga wano abawawaabirwa webasabidde omulamuzi okubawa omukisa bayimbulwe ku kakalu ka kkooti basobole okudda ewaka basange abaana baabwe bebaleka wabweru nga omukazi yasibwa n’omwanawe gw’ayonsa nga bano bagamba n’abantu baabwe abandibeyimiridde bali wala mu byaalo nga tebalina ngeri yakubategeeza

Omulamuzi Agelun yategezeza nga okuwa omuntu akakalu ka kkooti wekiri mateeka wabula abavnaanwa bano balina okuleeta abantu ababeyimirira bebatalina kyokka nategeeza nti olw’okuba Adongo ayonsa agenda ku muwa akakalu ka kkooti wabula alina okuwaayo ebimukwatako okuli n’okubuulira kkooti gy’agenda okuviira nga omusango bwegugenda maaso kubanga Arinaitwe y’abadde yasabye dda omulamuzi abantu bano newebaba bayimbuddwa baleme kudda wuwe kubanga obulamubwe buli matiiga okuva abantu bano wamu n’abantu baabwe bebaleka wabweeru bagenda mu nnyumba eno buli kiro.

Adongo yakalambidde nga bw’agenda mu nnyumba ya Arinaitwe gyeyali abaeeramu kubanga yamusasula ssente ze nga bw’agamba kyokka omulamuzi namutegeeza nga bwekitasoboka afune emikwano oba enganda gy’abeera abeera ensonga zino nga bwezigenda maaso kyokka bino by’abadde tebinateekebwa munkola Arinaitwe naagwa omulundi gumu ekigwo mu kkooti naazirika ekyaleseewo embeeera eyakazigizigi mu kkooti okumala akaera okutuuka weyayoleddwa nafulumizibwa mu kkooti era wano omulamuzi kwekuza fayiro y’omusango guno kumabali embeera edde munteeko nadda ku misango emirala.
 
Arinaitwe yategezeza nga emizanyi gyonna ejibalibwa abafumbo bano omukazi yamutwe mu gyo nga singa adda wabweru wakwongera okumukolako efujjo kyokka nga yawandiikira kkooti ng’ajisaba okuyisa ekiwandiiko ekigoba abantu bano mu nnyumbaye nga omulamuzi yamuwadde amagezi okuloopa ensonga zino mu kkooti eyengasi (Civil Court) kubanga yerina obuyinza kunsonga zino nga kkooti ye ekoma kukugaba bibonerezo era nasaba omuwaabi wa gavumenti okuyamba ku Arinaitwe okulaba nga akola kunsonga ze n’okumufunira munamateeka amuyambeko.
Omulamuzi ategezeza ababadde mu kkooti eno nga omuntu okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti bwekitategeeza nti omusango guwedde wabula ababeere bagumu kubanga akakalu kali mateeka era nategeeza nti omuntu yenna abeera alina okwemulugunya kunkwata y’omusangogwe asobola okuwandiikira akulira abalamuzi nebamuwa omulamuzi omulala oba omuwaabi omulala.
 
Ssentebe w’ekyalo Kireka D William Kibira ategezeza nga abafumbo bano bwebatamanyiddwa ku kitundu nga batuula munsonga zaabwe naye nebaziremererwa kwekubasindika ku poliisi gyebaava nebagenda mu kkooti.
 
Bya Skynewsug.com
 
 

Share This Article
Leave a Comment