Omusuubuzi akubiddwa amasasi agaamuttiddewo mu Disitulikiti y’e Agago.

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

10/6/2026

Omusuubuzi akubiddwa amasasi agaamuttiddewo omubbi mu Disitulikiti y’e Agago.

Waliwo omusuubuzi  akubidwa amasasi agaamuttiddewo omusajja atategeerekese  akawungeezi k’Olwokubiri mu Town Council y’e Kalongo, mu Disitulikiti y’e Agago, poliisi ky’eteebereza nti yabadde bubbi.

Omugenzi ategerekeseeko erya Morish Ocana yalumbiddwa ku ssaawa nga musanvu ez’ekiro nga wayise akaseera katono ng’asibye edduuka lye. Okusinziira ku James Nabinson Kidega, RDC ku Agago, omugenzi yabadde n’ensawo eteeberezebwa okubaamu ssente, omusajja eyamukubye n’amutunula.

“Omubbi eyabadde n’emmundu yasaba ensawo eno, kyokka omugenzi n’agaana okugiwaayo,” Kidega bwe yategeezezza. Omulumbaganyi ateeberezebwa okuba nga yabadde n’emmundu n’akuba Ocana amasasi n’atoloka n’ensawo.

Okuva olwo ab’ebyokwerinda baayiiriddwa mu bifo byonna ebiyingira n’okufuluma mu kitundu kino, era ekikwekweto ky’okunoonya kigenda mu maaso okulondoola eyakoze ekikolwa kino.

Ab’obuyinza tebannaba kuzuula oba omusajja eyabadde n’emmundu oba yabadde yekka oba yalina banne abeekwese okumpi awo. N’okutuusa kati tewali muntu yenna akwatiddwa.

Abatuuze mu kabuga ke Kalongo basabiddwa okubeera obulindaala n’okuloopa ekikolwa kyonna ekiteeberezebwa eri ab’ebyokwerinda. Okunoonyereza ku nsonga eno kugenda mu maaso.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment