3/7/2026
Basiimye abatandisi ba ppaaka ya Bwaise Terminal
BYA MUSASI WAFFE
Apollo Kashanku amyuka kamisona mu kitongole ky’ebyentambula n’enguudo asabye baddereeva okumanya embeerea n’ebikwata ku mipiira gyebateeka ku bidduka okwewala okukola obubenje

Kanshanku ategezezza nti baddereeva kirungi okumanya embeere y’emipiira ku bidduka nga tebanaba kusimbula kubanga kitaasa okukola obubenje nga ddereeva singa yekengere omupiira nga tanasimbula kimwanguyira ogukyuusa nateeka omulala oguli mu mbeera ennungi neyewala emmotoka okukola obubenje.
Bino Kashanku abyogeredde mu paaka ya ttakisi eya Bwaise Terminal e Bwaise mu Kawempe division, aba kkampani ya STASSU mwebasomedde lipooti ekwatagana ku kunoonyeeeza kwebakoze ku mipiira gy’ebidduka mu kawefube gwebaliko okukendeeza obubenje obuggwa ku nguudo nga buva okuvuga ebidduka ebiriko emipiira emifu.

Omukolo guno gwetabiddwako bakulira eby’okwerinda mu Kampala ne miriraano,abakulira poliisi y’e bidduka mu Kawempe division ,abakulu okuva mu kibiina ekikulembera omuli gwa ttakisi mu ggwanga ekya UTOF,abakulira ppaaka ya Bwaisw Terminal nabanene abalala.
Ate Sam Bambaza okuva kitongole kya Road Safety ategezezza nti basazeewo okusisinkana aba ttakisi mu ppaaka basomesa engeri gyebasobola okwewala obubenje ku nguudo nga bagula emipiira emiramu kubanga okusinziira ku lipooti gyebakoze baakizudde nti obubenje obusinga buva ku mipiira egyabikira mu lugendo ekivirako abantu abawerako okufiirwa obulamu bwabwe.

Mugeri yeemu abakulu mu kibiina kya Tyre xpress basomesezza aba ttakisi ebikwatagana ku mipiira gy’emmotoka okumanya omupiira omutuufu ogulina okugenda ku mmotoka negyo egiri mu mbeera embi naye nga gukyaliko enjola.
Ssentebe wa paaka ya Bwaise Terminal Muzamir Ndibu ng’ali n’omumyuka we Ronald Kayanja, bebazizza ab’e kitongole kya STASSU okuleeta omusomo mu ppaaka gyebakulembera kubanga kyakuyamba baddereeva okumanya emipiira emituufu gyebalina okukozesa ku bidduka okwewala okukola obubenje.
Kayanja asiimye abaatandika ppaaka eno nategeeza nti omulimu gw’okuzimba ppaaka gwatandika mu 1987 nekigendererwa eky’okulongoosa entambula y’ebidduka mu Kampala naddala mu Kawempe division okumalawo akalippagano k’e bidduka akaali kava ku ttakisi ezaali zittikira wabbali w’enguudo naye oluvannyuma lw’okutamdikawo ppaaka ya Bwaise Terminal akalippagano yekakyaliwo ttakisi zonna zittikira munda mu ppaaka.
Ate Aloysius Ddamulira akulira eby’okwerinda mu kibiina ekigatta omulimu gwa ttakisi ekya UTOF yebazizza abebyokwerinda okutenda ab’ebyolwerinda UTOF beyasindika mu ppaaka Kubanga bayambako KCCA okukungaanya omusolo okuva mu ttakisi gavumenti nesobola okuzimba enguudo kwebavugira emmotoka.
Ku mukolo guno abakwatisa empisa mu ppaaka basimidddwa era nebawebwa satifikeeti nabo nebeyama okukola okutaweera.

