26/6/2026
Kigambibwa Omuyizi Afudde Olw’okwetta Oluvanyuma lw’okukangavvulwa ku ssomero e Rubirizi.

Waliwo akabenje ak’ekikangabwa ku ssomero lya St. Thomas Vocational Secondary School mu Rutoto Sub-county mu Disitulikiti y’e Rubirizi, omuyiz afudde kigambibwa nti yeetuze oluvannyuma lw’okukangavvulwa.
Kigambibwa nti omugenzi ategerekeseeko erya Sheilla Ankunda yasangiddwa n’ebbaluwa y’omukwano.
Okusinziira ku mawulire agasoose, omusomesa, atannaba kutegeerekeka mannya, nti yamubonereza n’emiggo egiwerako n’amutegeeza nti agenda kulabikako mu kakiiko akakwasisa empisa mu ssomero.
Ensonda zigamba nti Ankunda eyabadde mu nnaku olw’ensonga eno oluvannyuma yaddayo mu kisulo n’eyetuga oluvanyuma lwokuswazibwa eri bayizi baane neyewanika ku mulabba ekyamujje mubulamu bwensi.
Bwe yatuukiriddwa okwogera ku nsonga eno, akulira essomero lino, Fr. Charles Niwagaba, yategeezezza nti abaddukanya essomero bakyakola ku mbeera eno era ne bagaana okwogera ebisingawo.
Bya mugula Dan

