Ssentebe w’e Kyalo Kito B alaze ensonga lwaki asaanidde ekisanja eky’okubiri

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

29/6/2026

Akulira akakiiko k’e byokulonda omulamuzi Simon Byabakama yasinzidde mu lukungaana lwa banna mawulire ku Mande nga 23 ku kitebe kya kakikko k’ebyokulonda natekawo olwa nga 28 July okulonda ba ssentebe b’e byalo mu ggwanga lyonna.

Okulangirira kwa Byabakama kwasitudde ebbugumu eri abo abaludde nga beegwanyizza okwesimba ku bifo by’obwa ssentebe nebalaga pulaani gyebaleese okutwala obuyinza , kyokka nabo abali mu ntebbe nabo bawera nti beetegese nnyo okusigazza ebifo byebalimu.

SSENTEBE WA KITO B N’OLUKIIKO LWE BALAZE ENSONGA LWAKI BAGALA EKISANJA EKIRALA

Godfrey Kaggwa ssente wa Kito B ekisangibwa mu muluka gw’e Kirinya mu division y’e Bweyogerere ategezezza nti yeyasooka okuba ssentebe w’e Kyalo ekyo mu 2018 nga mu kalulu ako yesimbawo nga talina kibiina, wabula agamba nti mukalulu kano yakwatidde ekibiina kya NUP bbendere .Kaggwa alaze ensonga lwaki, abatuuze b’e Kito B balina okumukomyawo n’olukiiko olwa bantu 11 baddemu babakulembere mu kisanja eky’okubiri kubanga balina bingi eby’enkulakulana byebateseteese okukola.

Kaggwa ategezezza, nti ekyalo Kito B kyaatandika mu 2011 , ng’abantu okufuna webaazimba amayumba baasooka ku saawa kibira ekyaaliwo nga kati abantu abasoba mu 6000 bebasula ku kyalo.

Ategezezza nti okuva weyalondebwa mu 2018 , asobodde okumalako ng’ali n’olukiiko lwe olw’abantu 11,nga kino kivudde ku nkwatagana ennungi wakati wabwe etaliimu mululu ,era asuubira nti singa abatuuze banabesiga baakusigala wamu boongere okusakkira abantu.

Alaze ebintu ebiwerako byebakoze mu kisanja kyebamalako omuli okugulira abatuuze amasefuliya,amasowaani,ebikoppo, ebiyambye abantu mu mikolo egy’enjawulo omuli okufiirwa,ebbaga,okwanjula n’emikolo emirala mu birala byebakoze mulimu

okuzimba emyaala n’entiddo okusobozesa abatuuze okusomoko okuva ku kyalo kyabwe okudda mu byalo ebirala omuli Kasokoso,Bukasa, ne Namataba n’ebyalo to ebiriraanye Kito B.

Ate Badir Kiyaga omuwanika w’e Kyalo Kito B ategezezza nti mu kisanja ekijja singa abantu banna besiga bagenda ku kola kwebyo byebatamalirizza omuli okuzaawo ebintu ebimu byebagulira ekyalo naye nebibbwa kati mu kisanja ekipya batunulidde okubizaawo.

Basabye banna Kito okubesiga baddemu babongere ekisanja kubanga bebasobola okukulakulanya ekyalo awatali kusosola muntu yenna wadde okwawula mu bibiina by’obufuzi.

Share This Article
Leave a Comment