Akakiiko k’ebyokulonda mu NRM kayise bonna abaagala okuvuganya mu kalulu k’okujjuza ebifo by’ababaka abakiirira Uganda mu Palamenti y’omukago gw’Amawanga ga East Africa (EALA) ku kkaadi ya NRM okuteekamu okusaba kwabwe gyekali.

Kino kiddiridde ababadde ababaka mu Palamenti eno okuli Denis Namara kati akiikirira Buyaga West ne James Kakooza akiikirira abakadde mu kitundu kya Buganda okulekulira ebifo byabwe oluvannyuma lw’okuwangula ebifo mu Palamenti ya Uganda mu kulonda okwakaggwa.
Bino birangiriddwa akulira eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi olwaleero bw’abadde ayogerako eri bannamawulire.
Bya Mugula Dan

