Abafumbo abafera landiroodi baziddwayo e Luzira,LC Ewandiikidde kkooti kukyokuva mu nnyumba

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

Abafumbo abafera landiroodi baziddwayo e Luzira,LC Ewandiikidde kkooti kukyokuva mu nnyumba
 
KIRA.
 
23/6/2026

LUVANYUMA lw’omulamuzi wa kkooti ento e Kira Winifred Agelun  okusindika ku alimanda e Luzira  abafumbo Francis Otayi 43 ne Mary Adongo 30 nga bano bafunaanwa emisango esatu egy’ekuusa ku bufere nga bano batuuze b’e Kireka D mu Division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira

Land loodi Denis Arinaitwe
Denis Arinaitwe nga Mutuuze w’e Kireka D gyalina amayumba g’abapangisa yadukira mu kkooti naloopa  abafumbo bano ng’abalanga okwesenza ku nyumbaye nga tabawadde lukusa kwosa okujingirira ebiwandiiko ebiraga nti bamusasula ensimbi nga bano tebaakoma okwo nebamujingirirako n’emisango egyenjawulo omuli okusobya ku Adongo, okumukuba wamu n’okulumya omwanawe nga ono yatuuka n’okusibwa ku poliisi e Kireka gy’agamba nti abasirikale abaali mu musango guno bagezaako okumunyigiriza era yamala mu kkomera ennaku 3.


Arinaitwe agamba olwava mu kkomera yamanya nti ensongaze mpanvu era zirimu ebirumira bingi kwekusalawo okuddukira ku ofiisi y’e Kyalo kino era Ssentebe w’ekyalo Kireka D William Kibira yatuula munsonga zino okumala ekiseera naye nezimulemerera olw’eneyisa yabawawaabirwa eyali enkyaamu nga n’enkiiko ezimu tebazimalangako nebaziyomeramu n’okwekandaga nga yatuuka n’okuwandiikira kkooti y’e Kira ng’ajisaba okujja abafumbo bano mu nnyumba za Arinaitwe zebayingiramu mu bukyamu era nakakasa nga yo Lc wetabamanyiiko ku kitundu kyokka ekiwandiiko kino tekyatekesebwa munkola.

Abafumbo abakwatibwa
 Oluvanyuma lwa Arinaitwe okwebubira enduulu ku poliisi ya Jinja Rd eyasitukiramu nekwata abafumbo bano oluvanyuma n’ebaletebwa ku poliisi y’e Kira gyebavudde nebatwalibwa mu kkooti e Kira omuamuzi Agelun n’abasomera emisango okuli Okujingirira ebiwandiiko bya lisiiti ebiraga nti basasula Arinaitwe ssente z’obupangisa, omusango gw’okutambuza ebiwandiiko buno ebijingirire nga bino baali babisaako n’omukono gwa Arinitwe nga omusango ogw’okusatu gwakusalimbira mu kifo ekikyamu nga bino byonna byaliwo mu mwaka oguwedde mu mwezi gwa October nga emisango gyonna abavunaanwa bagyebegaana.

Abafumbo abakwatibwa
Bano omulamuzi yabasindika ku alimanda e Luzira okutuusa nga 22/6/2026 wabula olunnaku lwa kkooti webakomyeewo omulamuzi teyabaddewo nebabazaayo okutuusa nga 6/7/2026.
 
Arinaitwe ategezeza nga abantu bano webali abafere abebaluwa kubanga waliwo lisiiti gyebakola eraga nti bamusasula ssente emitwalo 65 nga 24/3/2026 kyokka olunnaku lw’ebagamba lwebaali  mu lukiiko kunsonga z’okubagoba nga lw’atuula maka ge nga abafumbo bano bekyanga n’olukiiko nerukoma mu kubo kyokka newunya ate okulaba lisiiti egamba nti bamusasula kwolwo olunnaku.


Ono agamba awandiikidde ofiisi ezenjawulo ng’asaba obwenkanya obukyaabuze kubanga ennyumbaye abantu bano bajiremeramu nga wasabidde omuduumizi wa UPDF Gen Muhoozi Kayinerugaba okuyingira munsonga zino kubanga zirimu ebirumira ebiwera naddala ku ludda lwa poliisi nga ab’ekyalo bazeemu nebawandiikira Atwala Kkooti e Wakiso okuyingira munsonga zino Otayi n’e famile ye bave mu nnyumba ya Arinaitwe kubanga bajiyingiramu mu bukyaamu.

Bya Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment