23/6/2026
Poliisi egudde ku kabinja k’ababbi nga kanyagulula abantu nekoolekeza ebyasi ebittiddewo omu ku babbi bano.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwaleero e Nakawa mu zzooni ya Ssemwogerere ng’okusinziira ku Mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala, ababbi bano baasangiddwa Abaserikale abaabadde balawuna ekitundu nga bazinduukirizza omusuubuzi nga atambula ne mukyala we nebatandika okubapeeka byebaabadde nabyo ku mudumu gw’emmundu.

Poliisi egamba weyatuukidde nga bakyalakimpadde bano baweereddwa essimu y’omwami ne waleti olwo ng’obwanga babwolekezza mukyala naye abawe ensawo ey’omungalo.
Bano olwalabye Poliisi beekanze nebadduka okukakkana nga basudde ensawo omwabadde omunyago gwabwe n’emmundu gyebaabadde balina, ne Poliisi kwekuboolekeza amasasi.
By Skynewsug.com

