Bannayuganda mutandikewo amakolero eggwanga lisobole okukulakulana okugenda mu maaso.

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Uganda egenda kutegeka olukung’aana lwa UG Catalyst Summit okuva nga 25 okutuuka nga 27 June 2026 ku Motiv Bugolobi . Guno gwe musingi gwa Uganda ogw’eggwanga okukulaakulanya amakampuni, okuzimba enkolagana, n’okukungaanya bamusigansimbi.

Dr. Asuman Guloba

Nga ayogerako n’ebannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala enkya ya leero Asuman Guloba nga ye Dayirekita mu planning authority agambye nti olukungaana luno lutegekebwa wansi w’omulamwa: “Catalyzing Action for Growth: Okwanguya enkula ya Uganda ey’omirundi ogw’ekkumi nga tuyita mu kuyiiya n’okutandikawo emirimu.”

Yagasseeko nti nga Uganda egoberera enteekateeka y’enkulaakulana ey’omirundi ogw’ekkumi okugaziya ebyenfuna okutuuka ku buwumbi bwa doola 500 omwaka 2040 we gunaatuukira,zigya kola kinene nnyo mu kutambuza enkulaakulana mu bitundu ebikulu omuli Okukola mu by’obulimi n’amakolero, Enkulaakulana y’eby’obugagga eby’omu ttaka, Obulambuzi, ne tekinologiya.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment