Bya mugula dan
Kkooti enkulu esazeewo omumyuka wa kaliisoliiso wa gavumenti Anne Twinomugisha Muhairwe mu musango gw’okutyoboola erinnya lya Dean Luboowa Saava, addukanya omukutu gwa TikTok ogwa TV10 GANO MAZIMA, n’ezuula nti ebigambo ebyafulumizibwa ku akawunti eno byali bya bulimba n’okutyoboola erinnya lye.

Omulamuzi Joyce Kavuma ng’akubiriza omusango gw’obwannannyini nnamba 289 ogwa 2025 yagambye nti obujulizi bulaga nti ebigambo bino byabadde bigendereddwamu kwonoona linnya lya Muhairwe nga bamulaga ng’alina enguzi era atasaanira ofiisi ya gavumenti.
Kkooti yakkirizza okulangirira nti ebigambo bino bityoboola erinnya lye, n’efulumya ekiragiro eky’enkalakkalira ekiyimiriza okufulumya kalebule yenna kumukutu gunno ku mumyuka wa kaliisoliiso Muhairwe, era n’eragira Saava okufulumya ekiwandiiko eky’okwetondera mu lujjudde ku mukutu gwe ogwa TikTok.
Era kkooti neragira okuwa Muhairwe obukadde bwa UGX 100 mu musango ssente zonna zasasanyiza, kw’ogatta ssente n’amagoba. Saava teyayingidde mu kkooti wadde okwewozaako.

