20/7/2026
Umar Muyanja akwatidde ekibiina kya NRM bbendere okwesimba ku kifo kya Ssentebe w’e kyalo Kireka D, ekimanyidwa nga Kiganda alaze byagenda okutandikirako ng’awangudde.

Muyanja yeeyita Museveni w’e Kiganda olw’obukulembeze bwe bwagamba nti tebulina njawulo nengeri pulezidenti gyakulembeddemu Uganda okumala emyaka 40,
Ono lumalirizza okwewandiisa
ku division y’e Namugongo ayisizza ebivulu ng’ali n’abawagizi be okwetoolola ekyalo abatuuze nebamulaga essanyu nebamusubiza okumusimba mu mugongo awangule banne webatunka ku kifo,wabula ne Muyanja mu kwogera kwe asuubizaa abatuuze nti alina ebisuubizo bingi okuva ewa Pulezidenti omuli amasomero okuli erya pulayimale ne Secondary byalina okutuukiriza nasaba abatuuze ba Kireka D okukeera ku makya nga 28 bamusimbe mu mugongo awangule akalulu ekyalo ekituseeko enkulakulana.

Ategezezza nti agenda kulwana okulaba ng’a ku kyalo Kireka D bafuna ekyapa n’abasuubuzi ababadde n’ekizibu kyokubagoba webakolera nabo agenda kubalwanilira bafune obwenkanya.
Abamu ku batuuze basabye Muyanja okulemera ku nsonga nga bwabadde kubanga ekyalo kya Kiganda kimwetaaga nnyo okuba gwebalina mu esuubi okubanunula mu buli embeera ebanyigiriza.

