Abasuubuzi ku kizimbe kya Ovino balonze obukulembeze obugya.

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

8/8/2026

Abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Tirupati ekimanyiddwa nga Ovino Mall mu Kisenyi , balonze obukulembeze obugenda okubakulembera emyaka ebiri emirala

Abasuubuzi basinzidde mu lukiiko lwe batuzizza ku kizimbe kyabwe olukubiriziddwa abakulembeze b’e kibiina ekigatta abasuubuzi ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA) nga ssentebe w’e kibiina kino John Kabanda, omwogezi w’e kibiina Moses Lwegaba , ssabawandiisi w’e ekyo Hussein Kato bebakulembeddemu okulondesa.

Olukikko olubaddeko lubadde lukulemberwa Francis Kawooya nga lwalondera nga lwa kiseera okumala emyezi esatu, wabula wegyaweddeko abasuubuzi nebasalawo okutegeka okulonda balonde obukulembeze obupya ng’abalondeddwa baawereddwa ekisanja kya myaka ebiri.

Abasuubuzi basazeewo okukomyawo abamu ku babadde ku lukiiko olukadde okuli ssentebe abaddeko Francis Kawooya, Godfrey Kayiira nga omumyuka wa ssentebe, Ismail Kimumye nga omwogezi nga ono yabade akulira enyobuyonjo naye nebamujako nadda mu bigere bya Moses Lwegaba abadde omwogezi ng’alekulidde olw’e mirimu emingi gyalina nabalala abalondeddwa.

Kabanda akubirizza olukikko olulondeddwa okubeera aberufu mu bukulembeze bwabwe nga bakola ku bizibu ebiruma abasuubuzi kubanga babesize nebabakomyawo mu buyinza,

Mungeri yeemu Kabanda agumizza abasuubuzi abasoba mu 2500 abafiirwa emmaali yabwe mu mataba agaayingirira emmaali yabwe mu mataba agaayingirira ebizimbe mu nkuba eyatonya nga mu October omwaka oguwedde nti bakyalwana okulaba nga gavumenti ebawa ssente obuwumbi 20 pulezindenti Museveni zeyabasubiza.

Ate abakulembeze ku lukikko nga bakulembeddwa Ssentebe Kawooya agambye nti agenda kutandikira ku nsonga z’okulwanilira emirembe ku kizimbe omuli okumalawo effujjo lya basajja abayindi abagala okubalemesa ekizimbe ate nga tebakyalina bwanna nyini ku kizimbe ekyo. Okutumbula obuyinjo n’ebyokwerinda ebya maanyi abasuubuzi baganyurwe mu buwereza bwa bwe.

Share This Article
Leave a Comment