13 Sept 2026
BYA MUSASI WAFFE
Baddereeva ba ttakisi beeyiye ku kitebe ky’e kisinde kya PLU e Naguru okujjuzza emikono mu kitabo egisemba omuddumizi wa magye Gen Muhoozi Kainerugaba okuvuganya ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2031.

Bano baniriziddwa ssabawandiisi w’e Kisinde Kino Fadil Twalla, abakwasizza ekitabo mwe bagenda okuteeka emikono, beeyunge ku banna Uganda obukadde 20 abategebwa okuteeka emikono gyabwe mu kitabo ng’abasaba Gen Muhoozi avuganya ku bwa pulezidenti asikire Kitaawe Gen Yoweri Kaguta Museveni , agambibwa nti ayinza obutaddamu kuvuganya ku ntebbe y’obpulezidenti entebbe gyagenda okuvaako ng’akulembedde Uganda emyaka 45.
Vidiyo
Fadil akubirizza aba ttakisi okwagala ennyo eggwanga lyabwe nga bewala ebikolwa ebimenya amateeka basobole okubeerawo nga mu 2031 nga Gen Muhoozi avuganya ku bwa pulezidenti era nabasaba okumulonda.

Ate Rashid Ssekindi akulira ekibiina ekigatta omulimu gwa ttakisi ekya UTOF, agambye nabo basazeewo okuwagira Gen Muhoozi kubanga bamusubira bingi kulw’ensonga nti akyali muto, ng’ajakileeta ebiriwoozo ebigya okutwala eggwanga mu maaso. Amusabye wabanaba awangudde akalulu nabo abagale nnyo ng’abattakisi kubanga kitaawe Museveni ayagadde nnyo omulimu gwa ttakisi nalemesa abagagga abagala okugoba ttakisi mu Kampala.
Mu ngeri yeemu,Ssekindi asabaye aba ttakisi abakygaanye okukanisa ttakisi ziganyegenya okuzitwala mu garagi zikolebwe , beewale okuyoolebwa mu bikwekweto minisita w’e byentambula Fred Byamukama byeyalangirira eri ttakisi ezitalina bisanyizo ku nguudo.

Ate Mustapher Mayambala akulira eby’emirimu mu ttakisi, akuutidde aba ttakisi okusigala nga bali wamu, kubanga okuva webegatta nga ebiwayi ebyaali birwanira obuyinza mu mulimu gwa ttakisi, entalo zagwaawo y’ensonga lwaki tewakyaliwo kulwanagana kwonna mu mulimu gwa ttakisi.
Bino webigidde nga kigambibwa nti ku mikono obukadde 20, egyetagibwa mu wiiki emu okuva enkola eno weyatongozebwa ku ofiisi ya Ssentebe wa PLU e Kyadondo emikono akakadde kamu gye gyakakunganyizibwa era abakulu mu ofiisi eyo bagamba nti mu myezi ebiri emikono egyetagibwa gigyakuba giweddeyo.

