Bannakibiina ki NRM bawangudde obwa Ssentebe bwa LC1 abasinga e Nakaseke North omubaka Wilber Manyisa asiimye abantu olw’okulonda Nyeeyamye okwongera okunyweza enkulaakulana

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

29/7/2026

Nakaseke . Omubaka wa Nakaseke North, Owek. Wilber Amanyisa Ahebwa, ayozaayozezza abatuuze olw’okwenyigira mu kulonda Bassentebe b’ebyaalo mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) ne banabakyaala.

Omubaka, Wilber Manyisa Ahebwe

Okusinzira ku pulofeesa, Wilber ManyisaAhebwa, yagambye nti ebyavuddemu biraga obwesige abatuuze bwe balina mu kibiina kya NRM olw’obweyamo bwa gavumenti mu nkulaakulana ng’eyita mu kulongoosa ebizimbe by’amasomero, eby’obulamu, ebyobulimi, n’ensimbi za PDM gavumenti z’eteekamu.

“Bw’ozimba ennyumba, otandika n’amusingi, Abakulembeze ba LC1 gwe musingi gw’obukulembeze mu Uganda. Ebivuddemu bino biraga nti NRM esigala nga nnywevu mu Buganda ne Uganda” omubaka Manyisa bwe yategeezezza.

Omubaka wa Palamenti ayozaayozezza abantu b’e Nakaseke North olw’okwenyigira mu kulonda n’okuwagira abesimbyewo mu kibiina kya NRM mu kulonda. Ono era ayozaayozezza ba ssentebe ba LC1 abaakalondebwa n’abakulembeze b’obukiiko bw’abakyala, n’abakuutira okuweereza ebitundu byabwe n’obwesimbu n’obweyamo.

“Ekigendererwa kyange kisigadde ku nkulaakulana ya Nakaseke North. Ndi mwetegefu okukolagana n’abakulembeze bonna abalondeddwa LC1 n’olukiiko lw’abakyala okulaba ng’abantu baffe baganyulwa mu nteekateeka za gavumenti n’ekitundu kyaffe nga kigenda mu maaso,” bwe yagambye Pulofeesa Wilber.

Yasabye abakulembeze abaakalondebwa okussa enjawukana mu byobufuzi ku bbali bakolera wamu ku lw’obulungi bw’abantu bonna, n’ategeeza nti obukulembeze obulungi ku byalo bwetaagisa nnyo okutuuka ku nkulaakulana ey’olubeerera mu Nakaseke North.

Share This Article
Leave a Comment