UNEB eyongezeddwayo nsalesale wa abayizi abagenda okutula ow’okwewandiisa mu bigezo bya PLE, UCE, ne UACE ebya 2026 okutuuka nga June 30.

Ssabawandiisi wa UNEB Daniel OdongO nga ali ku Media centre
Omuwandiisi omukulu Daniel OdongO asinzidde mulukungana lwabanamawulire olwaleero ku Media centre mu Kampala avuddeyo alangiridde olwaleero nti okwongezaayo kuno kugenderera okuwa omukisa ebifo ebipya ebikkirizibwamu ebigezo.

Nga okwewandiisa ekikeerezi kujja kukkirizibwa okutuusa nga July 31, naye kujja n’ebibonerezo eby’amaanyi okusasula ebitundu 100 ku PLE ate ebitundu 50 ku UCE ne UACE. Tewali kwewandiisa kugenda kukkirizibwa oluvannyuma lwa July 31.

Odongo agambye nti masomero gakubirizibwa nnyo okuwandiisa abayizi abagenda okutula ebigezo nga bukyali okwewala omugotteko gw’enkola ku ssaawa esembayo
Gavumenti egenda kusasula ssente z’okwewandiisa eri bonna abayizi abagenda okutula ebigezo wansi wa UPE, USE ne UPOLET.
Abayizi ab’obwannannyini bagenda kusasula Ssente PLE: 34,000 UGX
UCE: Emitwalo 164, 000 egya UGX
UACE: Emitwalo 186,000 UGX
Odongo ategeezezza nti abakulira amasomero balina kwekenneenya abayizi baweebwa abagenda okutula ebigezo ob’abalina ebisaanyizo ebibakiriza okwewandiisa ku bigezo.

Ssabawandiisi wa UNEB Daniel OdongO
UNEB etegeezezza nga bwegenda okwongezaayo ebbanga ly’okwewandiisa eri abayizi abagenda okutula ebigezo okutuuka nga June 30 okusobola okusuza ebifo ebipya ebikkirizibwa.
Yayongedde okulabula nti tewali kuwandiisa abayizi abagenda okutula ebigezo kugenda kukkirizibwa oluvannyuma lwa July 31.
Abazadde oba abantu abasasulwa ssente ezisukkiridde eziyanjuddwa mu bukyamu nga ssente z’okwewandiisa mu UNEB bakubirizibwa okuloopa emisango egy’engeri eno ku poliisi ekuli okumpi.
Bya Mugula Dan


