7/6/2026
Hajjati Sharifah Buzeki ne ttiimu ya KCCA n’ekitongole ki IC Care, n’abasolooza kasasiro, ne Bakansala n’a bakulembeze b’ebitundu, n’abantu b’e Kasanvu e Makindye baggyawo ekifo ekisuulibwamu kasasiro ekyabaddewo mu kitundu kino okumala emyaka egisukka mu etaano.

Ab’obuyinza ku Lwomukaaga baategeezezza nti ekifo kino mu bitundu by’e Makindye Kasanvu zooni ekimaze emyaka egisoba mu 5 nga kifuuse kya bulabe eri abantu.

Akulira ekitongole ki KampalaCapitalCityAuthority KCCA, Hajjat Sharifah Buzeki, mu kampeyini ya Weyonje gyakola buli wiiki mu Kampala,yasinzidde mu divizoni y’e Makindye, yategeezezza nti ekitongole ky’eggaali y’omukka ekya “Uganda Railway corporation” nga bannannyini ttaka ewali ekifo webasuula kasasiro, balina okutwala obuvunaanyizibwa mu bwangu nga batagira abantu obutadamu kuyiwa kasasiro mu kifo ekyo.
Nneebaza bannaffe bonna n’abatuuze abeetabye mu dduyiro ono. Okuyimirizaawo ekibuga ekiyonjo kyetaagisa ffenna okukola ekitundu kyaffe.

Buzeki yakubiriza abatuuze okweyambisa enteekateeka ya KCCA eya “Bring to Truck” nga batuusa kasasiro waabwe ku loole zaffe ezisolooza kasasiro buli Lwamukaaga ku makya. Era nsaba amaka okwettanira okusunsula kasasiro, ekitakoma ku kukendeeza ku kasasiro akolebwa wabula n’okuleetawo emikisa eri ebitundu okufuna omugaso okuva mu bintu ebisobola okuddamu okukozesebwa.
Nga tuli wamu, tusobola okukuuma ebitundu byaffe nga biyonjo, bulamu bulungi, era ekibuga ekisobola okubeerawo, Buzeki bweyagambye.

Tulakita ng’etikka kasasiro okuva mu ntuumu ku loole ya kasasiro ku kyalo Kasanvu zooni mu divizoni y’e Makindye Kampala .
“Ekitongole ky’egaali y’omukka kidaabiriza layini y’eggaali y’omukka era tugenda kukuuma obuwangaazi bw’omukutu nga tumanyisa abantu obutadamu kuyiwa n’okukwata omutuuze yenna asangibwa ng’asuula kasasiro”, Nkuna bwe yagambye.
KCCA okuggyawo etuumu ya kasasiro yakoleddwa nga bakolagana ne IC-care Uganda n’abakwatibwako abalala nga poliisi ya Uganda, URC, n’abalala.
Akulira kkampuni ya IC-care, Azhar Sundhoo yagambye nti bamaze ebanga nga bakolagana ne KCCA emyaka ebiri egiyise.

Abatuuze bano nga bakulembeddwamu ssentebe wa LC1 waabwe, Kasanvu zooni Christopher Bizimana, bategezezza nga ekifo we basuula kasasiro wekirese obukyafu obungi mukitundu kino era bebazizza Hajjat Sharifah Buzeki okubawoonya n’ekivawo.
Bya Mugula Dan

