Ekirwadde kya Ebola kyongedde okuwanika amatanga nga kikakasiddwa nti kyesozze Kampala ne Wakiso.

Okusinziira ku batwala eby’obulamu mu ggwanga, abantu 9 bebaakazuulwamu ekirwadde kino nga 9 baasangiddwa Kampala ate omu yasangiddwa Wakiso nga mukadde kano abasawo bakola butaweera okuzza obulamu bwabwe mu nteeko.
Olw’embeera eno buli muntu asabiddwa okubeera obulindaala okwerinda ekirwadde kino naddala nga beewala okukwata mu ngalo n’okwegwa mu bifuba kwossa okunaaba mungalo buli kadde.
Bya Mugula Dan


