22/6/2026
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama ayanjudde enteekateeka z’okulonda obukiiko bw’abakyala n’obukulembeze bw’ebyalo wamu n’obwemiruka.

Agambye nti Obukiiko bw’abakyala bwakulondebwa nga 23 July omwaka guno, LC I baakulondebwa nga 28 July ate LC II balondebwe nga 10 August.

Okulonda kwakubeera kwakusimba mu mugongo mu byalo 71214.

Omulamuzi Simon Byabakama bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire lwakubye ku kitebe ky’akakiiko ky’abyokulonda mu kampala .
Bya Mugula Dan

