Ekanisa yabadvent mu Uganda esaasidde nnyo obukama bwetooro

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Ekanisa y’abAdvent mu Uganda esaasidde nnyo Obukama bwetooro olwokufiirwa omukulembeze waabwe owenonno Rukirabasaija Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV eyakweeka omukono gyebuvuddeko.

VIDIYO

Ssaabalabirizi wekanisa eno mu Uganda omusumba Samuel Kajoba yatuusiza okusaasira kuno kulwekkanisa eno, bwabadde e Najjanankumbi ngatongoza enteekateeka mu kanisa eno etuumiddwa One Voice 27 nga abadventi bonna mwebagenda okukozeseza emikutu gyaabwe gimugatta bantu okusasaanya Enjiri. 

Omusumba Samuel Kajoba asaasidde nnyo Obukama bwetooro olwokufiirwa kuno, era nasaba Katonda okubayisa mukiseera kino 

Omusumba Samuel Kajoba era atongozza enteekateeka ya One Voice 27, nasaba abadventi bonna okukozesa emikutu gyaabwe babunyise Enjiri.

Ye amyuuka sabawandiisi wekibiina Kya NRM RT Hon. Rosemary Namayanja Nsereko anyonyodde kunteekateeka eno eya One Voice 27, nakubiriza abantu naddala abavubuka okweyambisa obulungi emikutu gyaabwe ngabakolerako ebyo ebigasa

Ye omukadde asooka ku kanisa ye Najjanankumbi era nga yaliko mayor wekibuga Mukono, Steven Kabuye naye ayogedde kunteekateeka eno.

Share This Article
Leave a Comment