Temulonda abayaaye mu kalulu ka LC1 -Ssentebe Nsubuga

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

14/7/2026

Ssentebe w’e kyalo Bulabira Muhammed Nsubuga asabye abatuuze okwendereza nga balonda abakulembeze mu kalulu ka LC n’obukiiko bwa bakyala ku byalo okwewala abayaaye.

Nsubuga ategezezza nti abantu bangi abatalina mu mutima gwa kwongera nkulakulana ku byalo beesowoddeyo okwesimba ku bifo bya LC , n’ekigendererwa eky’okufuna sitaampu bakole ebyabwe omuli okutunda ettaka n’okukola effujjo ku byalo nga beyambisa sitampu wabula nga tebazze kukulakulanya kyalo olw’ebigendererwa byabwe

Nsubuga anoonya kisanja kya kubiri nga ekyasooka yaakitandika mu 2018 , nga yaggira ku kkaadi ya DP nga kigambibwa nti ne mukalulu kano kkaadi yeemu kwagidde .

Agamba mu myaka 7 , gyamazze ku bwa ssentebe akoze bingi omuli okusakkira ekyalo enguudo bbiri okuli oluva e Bulabira okudda e Kulambiro Ntinda mu division y’e Nakawa, oluguudo oluva e Kiwatule okudda e Buwaate, amasefuliya n’amasowooni ebiyamba abatuuze mu mikolo egy’enjawulo

Nsubuga ategezezza nti mu bantu abangi abeesowoddeyo okuvuganya ku bwa LC abamu bayaaye nga tebasula mu byalo mwebagenda okwesimba ate nga eteeka erirungamya mu kalulu ka LC ku mulundi guno liragira oyo yekka asula ku kyalo yabeera yesimbawo,kyokka waliwo abayaaye abavudde ku byalo ebirala nebayingira ebyalo gyebatasula nebesimbawo nebigendererwa byabwe ekiyinza okuteeka ekyalo ku buzibu singa bawangula nga kino abalonzi basaanidde okukitegeera nga balonda.

Ate Daniel Kato omumyuka wa ssentebe wa Nsubuga ategezezza nti webagira mu ntebbe,ekyalo kyaliko obumanyi bwa mateeka obwamanyi naye ensonga eno bagilwanyisizza nebagimalawo era kati abatuuze batambula obudde bwona nga tewali kyebekwngera noolwekyo ku byebakoze abantu b’e Bulabira basaanye okuddamu okubalonda babawe ekisanja eky’okubiri boongere okubasakkira nga mu kalulu kano batunulidde kutuusa bitaala ku nguudo.

Ekyalo Bulabira, kisangibwa mu Najjeera A owa,Kira division,Kira Ward Kira Municipality mu Wakiso disitulikiti nga kyayawulwa ku kyalo Najjera ekyali ekinene mu 2018 nga olukikko olukulemberwa Nsubuga lwelwasoose okukulembera ekyalo kino.

Ekyalo kino Bulabira kirina abantu abasoba mu mitwalo 30,000 n’amaka agasoba mu 4000, kisulwamu abantu abaamanyi omuli ba minisita, ba kamisona b’e bitongole bya gavumenti abagagga, nabo abali wakati kati mu by’enfuna .

Bya Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment