POLIISI E NATEETE EKUTTE OMUVUBUKA ABADDE AWUDDIISA ABANTU NTI MUWALA

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Poliisi ye Nateete ekutte omuvubuka Kayaga Rayan abadde awuddiisa abantu nti muwala nasobola okutuukiriza ebigendererwa bye, nga kigambibwa nti mu kakodyo kano yafuniramu n’omulimu gw’okubeera omukozi w’awaka nakozesa akakisa ako okubba akakadde k’ensimbi kalamba mu emitwalo nsanvu (1,700,000) ku mukama we.

Ssenkaggale ono abadde yepaatikako erinnya lya Namirembe Rukia yazuuliddwa omukuumi w’ekkanisa emu e Mutundwe oluvannyuma lw’okumwekengera bweyabadde egenze okusaba, kwekumukebera ku buwaze nebakakasa nti musajja awedde emirimu.

Ono mu kadde kano akuumirwa ku Poliisi nga bweboongera okumunoonyerezaako

Share This Article
Leave a Comment