Ssaabaminisita Nabbanja Ayisizza Ebiragiro Ebikambwe Ebipya Ku lunaku Lwo’kuyonja Mu Ggwanga lyonna.

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

12/8/2026

Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja Musafiri alagidde abakulembeze mu gavument eze bitundu omuli ne ba RDCs okwetegekera olunaku olwa nga 29 omwezi guno eggwanga lyonna w’erigenda okudamu okwetaba mu kuyonja nga omu kawefube wo kukuma obuyonjo, olwo kino kiyambeko ne mukulwayisa obukyaffu obubadde buvako ne endwadde.

 Nabbanja asinzidde mu lukungana lwa banamawulire oluyindidde mu ofiisi ye mu Kampala, nategezza nti kija kuba kirungi ddala singa abakulembeze bano n’ebatandikirawo okukunga abantu ku kawefube ono owokulongosa, nga wakutandika sawa emu okutuuka ku ssawa nya ezo ku makya nga enaku zo mwezi 29 ku lwo mukaaga olu’nasemba muwezi guno.

Mungeri yemu Nabbanja ategeezeza nti olunaku luno okulongosa kugenda kubeera kwabuwaze nga oyo yenna anagana okugoberera emitendera wakuvunanibwa.

Alagidde abakulembeze mu gavument eze bitundu okulonda ebiffo we bagenda okulongosa era batekewo ne bikozesebwa mu kukunganya kasasiro, nga okuyonjja olukulu mu ggwanga kwakuyindira Epic Health centre mu munisipality eye kiira mu Disitulikiti ye Wakiso.

Vidiyo

Wano era ne Minisita avunanyizibwa ku nsonga zo mukulembeze we ggwanga, Milly Babalanda akunze ba RDC na bamyuuka babwe okwetaba obuterevu mu kawefube wo kulongosa kuno nadadala nga bakunga bannauganda.

Ate ye Minisita omubeezi owa gavument eze bitundu Justine Nameere asabye banauganda obutawuliriza abo ababawudisa baleme kwetaba mu kulongosa kuno, nategezza nti okuyonjja kuno kwabuwaze era kuli mu Mateeka.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment