13/8/2026
Omubaka wa Nakaseke North, Polof. Wilber Ahebwa asisinkanye Minisita w’emirimu n’entambula, Owek. Fred Byamukama, okutema empenda okulaba nga gavumenti ekola enguudo zomu kitundu kino mu bwangu ddala okusobola okukulakulanya eby’obusuubuzi .

Minisita Fred Byamukama ku kkono ku ddyo ye mubaka Wilber Ahebwa
Wakati w’abakulu babiri mukubaganya ebirowoozo mu lukiiko luno lwatunuulidde enguudo bbiri enkulu okuli Butalangu–Ngoma–Buryamushenyi–Masindi Road, oluweza kiromita 121, n’oluguudo lwa Katuugo–Kinyogoga–Kaweweta, oluweza kiromita 42.
Polof. Ahebwa yategeezezza nti enguudo zino zirina obukulu mu by’enfuna okusukka Nakaseke North naddala nga zitumbula eby’obulambuzi nga ziyingira mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park n’okugatta ebitundu omuli abalunzi b’ente, singa gavumenti ezikola kolaasi abasuubuzi b’amata bagya kuba nga bafunye obutale.

Oluguudo lwa Katuugo–Kaweweta era lwayogerwako ng’oluguudo olukulu olw’ebyokwerinda, ekifudde okululongoosa okuba eky’amangu.
Mu lukiiko luno, Minisita ne kaminsona w’enguudo z’eggwanga bakakasizza nti enguudo zombi ze zimu ku pulojekiti gavumenti z’egenda okukulembeza era nga zaakwanguyizibwa mu nteekateeka y’enguudo mu ggwanga.

Wabula ensonga y’okuliyirira abantu abalina ettaka yavuudeyo nga emu ku biyinza okusoomoozebwa ebiyinza okulwaza pulojekiti zino.
Okusinziira ku mubaka Wilber Ahebwa ne Minisita Fred Byamukama, Pulezidenti yali ataddewo enguudo zino okukolebwa kolaasi, kyokka nga n’ensimbi zikyetaagisa okusobola okwanguyiza okuliyirira abantu abalina ettaka okugenda okuyita enguudo kyoka tekunnagenda mu maaso bulungi.

Polof.yagambye nti enkolagana wakati wa gavumenti n’abantu b’omukitundu eyinza okuyamba pulojekiti enguudo okutandika amangu ddala okuyiwa kolaasi singa abantu banawayo ettaka.
Ekiteeso ky’okulongoosa enguudo kisuubirwa okutumbula eby’obusuubuzi, okutumbula enkola y’emirimu gya gavumenti n’okunyweza enkolagana wakati w’abantu mu bitundu by’e Nakaseke North ne disitulikiti eziriraanyewo.

