13/8/2026
Ekitongole ki kcca nga kikulembedwa nankulu wakyo Hajjati sharifah Buzeeki nakulira eby’obulamu Dr. Sarah Zalwango batongoza ekifo eky’okuyonsezamu abaana abato nadaala eri abasawo banakazadde , abakolera kudwaliro mukifo kino nadala webabera mukuwereza abantu.

Mukwogera kwa akulira eby’obulamu Dr. Sarah Zalwango nga asinzide mukutongoza okuyindide ku city hall, agambye nti kinno kyakuyamba abasawo abakolera ku ddwaaliro lya city hall.

Dr.Sarah Zalwango
Era agambye enkola eno yatandikako emabegako mumatwale ga kampala mubifo nga obutaale obwazimbibwa baterayo banakazadde ebifo w’okuyonseza abaana babwe.
Vidiyo
Dr. Sarah era agambye nti bakugenda nga basomesa abantu okulabirira abaana n’ebintu ebizimba omubiri eby’obutonde kibayambe okutangira endwadde ezitaali zimu ezilumba abaana nga batto.
Sira Burungi Gandi akulira ebyekikula ky’abantu mukitongole ki kcca ye agambye nti bakulambika abantu okwetanira okulima nadaala enva endirwa mubikebe mubifo mwebawangalira.

Okutongoza kwakulembedwamu nakulu w’ekitongole era yakwasidwa ebintu okuyambako mukujanjaba abaana kwosa abakebera okuva mukitongole ki Unicef.

