15/8/2026
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala KCCA kitadde amaanyi mu kampeyini ya weyonje okutumbula obuyonjo mu Kampala.

Amyuka akulira ekitongole kya KCCA Benon Kigenyi ng’ayogerako n’abatuuze asabye Bannakampala okukomya okusasanya kasasiro buli webasanze kuba kino kivaako obugyama mukitundu.
Vidiyo
Okwogera bino abadde akulembeddemu ab’ekitongole ki KCCA mu kuyonja n’okugogola emyala kukyalo Kabale zooni e Busega okuyoola kasasiro wansi w’enkola emanyiddwa nga weyonje.
Kyoka era avumiridde ebesulirayo ogwanagamba n’ebatasasula kasasiro nga beyiguliza mubifo ebikalu webamuyiwa n’ebamwokya ekikyamu.
Amyuka akulira KCCA Benon Kigenyi ne Dr. Sarah Zalwango, nga bogerako n’abatuuze muddoboozi ya katambi
Dr. Sarah Zalwango akulira eby’obulamu mu KCCA abakuutidde okwewala obucaafu obuviirako endwadde ezitaali zimu ne zibatwalako ensimbi mu kwejjanjaba kyokka nga balizikozeseza okutondawo binsines.

Abakozi ba KCCA nga baggyawo ekifo ekisuulibwamu kasasiro ekyabaddewo mu kitundu kino
Zalwango asimye abetanira okutambuza omulanga gw’okeyonja kyagambye okuva w’ebatandika kampala ekyuse wabula nakutira abantu okusasula kasasiro aky’abalimu abajibwemu.

Amyuka akulira KCCA Benon Kigenyi ne Dr. Sarah Zalwango mu kuyonja e Kabale zooni mu kifaananyi
Ate Loodi mmeeya wa Kampala Ssalongo Balimwezo Nsubuga atendereza enkola ya “Weyonje ” nti ekoledde ddala okutumbula obuyonjo mu Kampala era n’asaba akulira ekitongole kya KCCA Hajjati Sharifah Buzeki okukwata abantu abasasanya kasasiro mu kibuga.
Wanno Balimwezo wasinzide nategezza nti KCCA egenda kongera ku bimotoka ebikung’aanya kasasiro buli divizoni.
Bya Mugula Dan

