Gavumenti ekkirizza okusasula ensako y’abasawo bonna abakyagezesebwa

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

18/8/2026

Government ya Uganda ekkirizza okusasula ensako y’abasawo bonna abakyagezesebwa  abamanyiddwa nga Medical Interns, akakadde kamu aka sailing akamubuli mwezi.

Minisita Alioni Yorke Odria

Gyebuvuddeko olukiiko lwa baminister lwasalawo nti government ba medical intern  bokka  beyambako mu kusoma ku matendekero bokka beeba esasula ensako nr mu malwaliro gyebageserezebwa ,olwo abayizi abesasulira government ebasulire emmere y’ekyemisana yokka, ekyasikuula emeeme za bayizi bano abamu nebasalawo okwekalakaasa.

Wabula Minisita omubeezi  avunaanyizibwa ku kulung’amya eggwanga  Hon .Alioni Yorke Odria asinzidde ku Uganda Media Centre mu Kampala nategeeza nti Cabinent yekyusizza kakano   esazeewo  okuwa abayizi bonna abagezesebwa obusawo akakadde ka shs kamu awatali kwawulamu.

Omugatte balina kufuna shs 1,268,929, bwokuvaayo omusolo, basigazaawo akakadde kamu.

Kunsonga ya bayizi 8 abakwatibwa nga bekalakasa olwa government okugaana okubawa ensako wabula nga bayimbuddwa  ku kakalu ka Kooti okuvannyuma lw’ennaku 3 mu kkomera, Minister   Baryomunsi ategezeezza nti wakukwatagana ne Ssaabawaabi wa government saako Police wabeewo ekikolebwa ku misango egibavunaanibwa.

Mumbeera yeemu gavumenti eyongezaayo nsalesale gweyawa ba Medical intern okugenda mu malwaliro okutandika okugezesebwa, yali wa 14 August, kati ejjuluddwa okutuuka ku Friday nga 21 August,2026.

Wabula Minisita Baryomunsi alabudde abadukanya Amalwaliro abalekera ba Intern obuvunayizibwa bwonna okukomya bunnambiro.

Share This Article
Leave a Comment