Embeera ennongoofu buvunaanyizibwa bwa buli muntu okweyonja muyumba mwasula ne kukyalo gyawangaalira- Kigenyi

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

20/6/2026

Kaweefube w’okuyonja e kibuga Kampala abakulira ekitongole ki Kampala Capital City Authority KCCA bogedde amaanyi mu kampeyini ya weyonje, egendereddwamu okulwanyisa enkola embi ey’okusuula kasasiro, basobodde okugogola emikutu gy’amazzi agakulukuta, basengudde kasasiro, era n’ebasomesa abatuuze ku bukulu bw’obuyonjo obulungi okutangira endwadde .

Amyuka dayirekita wa KCCA Benon Kigenyi ng’ayogerako eri abamawulire nga dayirekita w’ebyobulamu Dr Sarah zalwango atunuulidde abagogolaomwala. Bino byabadde mu kampeyini ya weyonje mu kuyonja Kawaala 111, Rubaga Division, nga June 20/6/2026

Olwaleero’Lwomukaaga, Amyuka akulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority “KCCA” Benon Kigenyi, ne dayirekita w’ebyobulamu Dr Sarah zalwango baakulembeddemu okuyonja okw’amaanyi mu bitundu bye Kawaala 111, mu Divizoni y’e Rubaga. 

Benon Kigenyi akubirizza abatuuze okukola enkola ennungi ey’obuyonjo n’okwewala okuddukanya emidaala gy’emmere ku mikutu gy’amazzi agakulukuta, kubanga kino kireeta obulabe obw’amaanyi eri obulamu bw’abantu omuli n’endwadde z’ekiddukano.

Abakozi mu KCCA nga bagogola omwala e Kawaala 111

Ekibuga kino kisobola okusigala nga kiyonjo singa ebitundu bitwala obwannannyini, ” Benon Kigenyi bwe yategeezezza abatuuze. “Ffenna tulina okwettanira enkola za kaabuyonjo ezitali za bulabe, okusuula kasasiro obulungi, n’okwetaba mu kuyonja emiriraano buli kiseera “.

Abakulembeze essira balitadde ku ky’okuyonja emikutu gy’amazzi, nga mingi gibadde gyazibikira nga tegisobola kutwala mukoka olwbukyafu obungi omubadde ebicupa kino kibadde kireese obulabe bw’amataba n’endwadde mukitundu kino. 

Ng’oggyeeko okuyonja Kawaala abakulembeze ba KCCA bakozesezza omukolo guno okumanyisa abantu b’omu kitundu ku nsonga z’okuddukanya kasasiro. 

Dr Sarah Zalwango yajjukizza abatuuze nti mu kampeyini ya weyonje, KCCA ebadde ebakubiriza obutayiwa kasasiro mu mifulejje. 

“Buli muntu lw’akola kino, aziba omukutu n’ateeka ekitundu kyonna mu matigga “, bwe yagambye. 

Yagasseeko nti okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko mu kitundu kino kwalaga nti emikutu mingi gikozesebwa bubi ng’ebifo we basuula kasasiro n’okutuuka ku kaabuyonjo.

 Dr. Zalwango yagambye nti okusunsula kasasiro mu kifo ekitali kituufu, abantu balina okuba n’obuvera okukung’aanyizibwa mu buvunaanyizibwa bwa buli muntu mu kibuga eri amaka gonna. 

Abatuuze era balaze obweraliikirivu olw’okulwawo okukung’aanya kasasiro eri kkampuni ezikwatibwako. 

Zalwango, yakkirizza nti yafuna okwemulugunya okufaananako n’okwo n’agamba nti KCCA yalabudde kkampuni zino okussaawo ennaku z’okusolooza kasasiro mu maka ga bantu mugeri ennongoofu. 

Dr.Sarah zalwango yagambye nti KCCA olunaku lw’eggulo yafunye engule ya National Environmental Sustainability Award, okusiima kuno kulaga okwewaayo kwaffe eri ekibuga ekiyonjo, ekiramu, era ekiwangaala nga tuyita mu nteekateeka omuli okuteekawo ebyuma ebilondoola obucaafu bw’empewo ebisoba mu 100, okussa mu nkola Enteekateeka y’okukola ku mbeera y’obudde, okuzzaawo obutonde bw’ebimera ebirabika obulungi, okusimba emiti, okukwasisa amateeka ku bucaafu, ne kaweefube w’okuyonja ekibuga.

Bya Dan Mugula

Share This Article
Leave a Comment